YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 6

6
Katonda annyonnyola ebinatuuka ku bantu be
(6:1—12:6)
Okuyitibwa kwa Isaaya (6:1-13)
1Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nnalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu era engulumivu, n'ekirenge ky'ekyambalo kye nga kijjuzizza Yeekaalu.#1 Bassek 22:19, 2 Byom 26:23, Yok 12:41 2Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri nga bibisse ku maaso ge, n'ebibiri nga bibisse ku bigere bye, n'ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka. 3Omu n'ayogerera waggulu n'agamba munne nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”#Kubal 14:21 4Eddoboozi ly'Oyo eyayogerera waggulu ne likankanya emisingi gy'emiryango, Yeekaalu n'ejjula omukka.#1 Bassek 8:10,11 5Ne ndyoka njogera nti, “Zinsanze! nfudde nze, kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno kaakano amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.”#Luk 5:8 6Awo omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo; 7n'alikomya ku mimwa gyange n'agamba nti, “Laba, lino likomye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.” 8Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, ng'agamba nti, “Naatuma ani, Ani anaagenda ku lwaffe?” Nze ne nziramu nti, “Nze, nzuuno: tuma nze.”#Lub 1:26 9N'aŋŋamba nti, “Genda obuulire abantu abo nti, ‘Okuwulira muwulira naye temutegeera; okulaba mulaba, naye temwetegereza.#Mat 13:14,15, Mak 4:12, Luk 8:10, Bik 28:26,27 10Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, okukyuka, okuwonyezebwa.’ ”#Yok 12:40 11Nze ne ndyoka mbuuza nti, “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti, “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala.#Is 1:7 12Nze Mukama ndisengula abantu ne mbatwala ewala, ebifulukwa ne biba bingi mu nsi eyo. 13Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newakubadde nga kiryokebwa, naye kiriba ng'omumyuliru oba ng'omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ate ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.”#Ma 7:6, Yob 14:7

Currently Selected:

Isaaya 6: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in