Isaaya 5
5
Oluyimba lw'ennimiro y'emizabbibu
1Ka Nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Omwagalwa wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo.#Zab 80:8, Mak 12:1 2Yalulima n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu emizabbibu emirungi ennyo, n'aluzimbamu wakati omunaala ogw'okukuumiramu, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira nti lunamubalira ezabbibu ennungi naye ne lumubalira ezabbibu ez'omu nsiko.#Yer 2:21 3Kale nno, mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemi nammwe ab'omu Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu. 4Kiki nate kye nandikoledde ennimiro yange eyo ey'emizabbibu kye ssaagikolera? Lwaki bwe nnasuubira ebale ezabbibu ennungi, yabala ezabbibu ez'omu nsiko?#Mi 6:3,4 5Kale nno kaakano kambategeeze kye nnaakolera ennimiro yange eyo: nja ku giggyako olukomera lwayo, mmenyewo ekigo ekigikuuma ebisolo biriiremu era bigirinnyirire.#Zab 80:12, Kos 2:12 6Nja kugizisa, terimwenga era tesalirwenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiragira ebire obutagitonnyesangako nkuba.#Is 7:23 7Ennimiro ey'emizabbibu eya Mukama ow'eggye ye nnyumba ye Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubiramu bwenkanya, naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye alaba kujooga na kukaabya bantu.
8Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mulina, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi mugibeeremu mwekka.#Mi 2:2 9Mukama ow'eggye alayidde nga mpulira nti, “ Mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, teziribeeramu azibeeramu. 10Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi (10), eneevangamu ekibbo kimu, ne kisero ky'ensigo kinaavangamu akabbo kamu kokka.”#Ez 45:11
11Zibasanze abo abakeera enkya ku makya okunoonya ekitamiiza; abalwawo nga banywa okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa.#Nge 23:29,30 12Ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge bibeera ku mbaga zaabwe. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.#Yob 34:27, Is 26:11, Am 6:5,6 13Kale abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga babulwa okutegeera. Abantu baabwe ab'ekitiibwa balifa enjala, n'abantu baabwe bonna ennyonta eribatta.#Is 1:3, Kung 4:7,8, Kos 4:6 14Amagombe kye galiva gagaziya okwegomba kwago, ne gaasamya akamwa kaago okubamira. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n'abantu baabwe bangi ababadde bakola effujjo n'okukuba embeekuulo. 15Buli muntu aliswazibwa, n'abamalala balitoowazibwa.#Is 2:9,11,17 16Naye Mukama ow'eggye aligulumizibwa olw'obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw'ali omutukuvu mu butuukirivu bwe. 17Endiga ento ziryoke zirye ng'eziri mu malundiro gaazo, n'embuzi ento ziriire mu bifo ebyalekebwa awo.
18Zibasanze abo abawalula ebibi byabwe, ng'abakulula ekigaali kye basibyemu omuguwa. 19Aboogera nti, “Mukama ayanguyeeko, by'akola tubirabe. Enteekateeka z'Omutukuvu wa Isiraeri nazo zijje, zituuke tuzimanye.”#Is 66:5, 2 Peet 3:4
20Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa!
21Zibasanze abo abeemanyi bwe bali abagezi, era abakalabakalaba mu kulaba kwabwe bo!#Nge 3:7, Bar 12:16
22Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza:#Is 5:11 23abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi, era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!#Kuv 23:8 24Kale ng'omuliro bwe gwokya ekisambu n'essubi ekkalu, bwe kityo ekikolo kyabwe bwe kirivunda, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.#Is 1:4; 30:9, Yo 2:5
25N'olwekyo obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuukira ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gyabwe gisigale ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, n'omukono gwe gukyagoloddwa.#2 Bassek 22:17, Is 9:12,17,21; 10:4 26Aliwenya amawanga agali ewala, alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, era balyanguwa mangu okujja. 27Tewaliba mu bo akoowa newakubadde alyesittala okugwa; tewaliba abongoota newakubadde eyeebaka. Enkoba zaabwe ze b'esiba tezirisumulukuka, wadde obukoba bw'engatto zaabwe okukutuka. 28Obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe bigumu ng'amayinja ag'embaalebaale, ne nnamuziga z'amagaali gaabwe zidduka nga mbuyaga. 29Okuwuluguma kwabwe kuliba ng'empologoma, ekutte omuyiggo gwayo, ne gutwalira ddala awatali addukirira. 30Olunaku olwo bwe lulituuka baliwuumira ku Isiraeri, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, n'ebire biriziyiza omusana okwaka.#Is 8:22
Currently Selected:
Isaaya 5: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: