Isaaya 58
58
Obunnabbi bwe Kitiibwa kya Isiraeri eky'omu maaso
(58:1—66:24)
1Yogerera waggulu, tosirika,
yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere,
obuulire abantu bange okusobya kwabwe,
n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.#Mi 3:8
2Naye bannoonya bulijjo,
era basanyuka okumanya amakubo gange;
ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu,
ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe,
bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu,
basanyuka okusemberera Katonda.#Is 29:13
3Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba?
Lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo?
Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.#Nek 5:1-12, Is 56:2
4Laba, musiibira ennyombo n'okulwana,
nga mukuba ebikonde.
Temuyinza kusiiba leero bwe mutyo
eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5Okusiiba kwe nnalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe?
Kwe kukutamya omutwe ng'olulago,
n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we?
Ekyo ky'onooyita okusiiba,
era olunaku Mukama lw'asiima?#Zek 7:5
6Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda?
okusumulula ebisiba eby'ekyejo,
okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo,
n'okuteera ddala abajoogebwa,
era mumenye buli kikoligo?
7Si kugabira bayala emmere yo,
n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo?
bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza;
n'oteekweka baganda bo abeetaaga obuyambi bwo?
8Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya,
n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja,
n'obutuukirivu bwo bulikukulembera;
ekitiibwa kya Mukama kirikuvaako emabega.#Yob 11:17, Is 52:12, Yer 30:17
9N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba;
olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno.
Bw'onoggya wakati wo ekikoligo,
okusonga ennwe, n'okwogera obubi;#Nge 6:13
10n'omuggirawo omuyala obulamu bwo,
n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa;
kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza,
n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu;
11era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu
n'anyweza amagumba go;
naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi
era ng'oluzzi lw'amazzi
olutaggwaamu mazzi.#Yer 31:12
12N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika;
olizza emisingi egy'emirembe emingi;
era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli,
Muzza wa makubo ga kutuulamu.#Ezer 6:14, Is 61:4
13Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti
obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu;
Ssabbiiti n'ogiyita essanyu,
olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa;
n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe,
so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe:#Nek 13:15-21, Is 56:2
14kale n'olyoka osanyukira Mukama;
nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi;
era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.#Ma 32:13, Yer 50:19
Currently Selected:
Isaaya 58: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.