Isaaya 56
56
1Bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti, “Mukole eby'amazima era mukolenga eby'obutuukirivu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.#Is 46:12,13
2Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n'omwana w'omuntu akinyweza;
akwata Ssabbiiti obutagyonoona,
n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.”#Is 58:13
3So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga
nti, “Mukama talirema kunjawula n'abantu be,”
so n'omulaawe tayogeranga
nti, “Laba, ndi muti mukalu.”#Is 14:1
4Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti, “ Eri abalaawe abakwata Ssabbiiti zange,
ne beeroboza ebyo bye nsanyukira,
ne banyweza endagaano yange.
5Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo
n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala
mu nnyumba yange mu bisenge byamu,
ndibawa erinnya eritaliggwaawo
eritaliggibwawo.#2 Sam 18:18, Yok 1:12, Kub 3:12
6Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama,
okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama,
okuba abaddu be,
buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona,
n'anyweza endagaano yange;
7abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu,
ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu;
ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange:
kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu
eri amawanga gonna.#Is 19:24,25, Mak 11:17, Bar 15:6
8Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa
ayogera nti, Oliba olyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala,
obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.”#Is 11:12, Yok 10:16, Bef 1:10; 2:11-16
9Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya,
mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.#Yer 12:9
10Abakuumi be bazibe b'amaaso,
bonna tebalina kumanya;
bonna mbwa nsirusiru,
tebayinza kuboggola;
baloota, nga bagalamira,
baagala okubongoota.#Yer 6:13,17
11Weewaawo, embwa za mululu,
teziyinza kukkuta ennaku zonna;
ne bano basumba abatayinza kutegeera;
bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo,
buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.#Yer 23:1, Ez 34:2,3
12Boogera nti, “Mujje, nnaakima omwenge,
ne twekamirira ekitamiiza;
n'olw'enkya luliba ng'olwa leero,
olukulu olutenkanika.”#Is 28:7, Luk 12:19
Currently Selected:
Isaaya 56: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: