YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 40

40
Essuubi eri abaali mu buwaŋŋanguse
(40:1—55:13)
Essuubi ly'okununulibwa kwa Isiraeri
1“Musaasire, musaasire abantu bange,”
bw'ayogera Katonda wammwe.
2Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi,
mumukoowoole
nti entalo ze ziweddewo,
n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa;
Era Mukama amusasudde
emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.#2 Byom 36:22, Kos 2:14
3Eddoboozi liwulirwa waggulu
Mu lukoola nti, “Mulongoose ekkubo lya Mukama,
mutereeze olugendo lwa Katonda waffe mu ddungu.#Zab 68:4, Mal 3:1, Mak 1:3, Yok 1:23
4Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n'akasozi birikkakkanyizibwa;
n'obukyamu buligololwa,
n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa.#Luk 3:5,6
5n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu.
Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?”
Omubiri gwonna muddo,
n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro.#Yob 14:2, Zab 103:15, Yak 1:10,11, 1 Peet 1:24,25
7Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera;
kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako;
mazima abantu muddo.
8Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.
9Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
weerinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya;
gamba ebibuga bya Yuda
nti Laba, “ Katonda wammwe!”#Is 52:7
10Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi,
n'omukono gwe gulimufugira,
laba empeera ye eri naye,
n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.#Is 62:11, Kub 22:12
11Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba,
alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe,
n'abasitula mu kifuba kye,
aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.#Mat 18:12, Luk 15:5, Yok 10:3; 21:15
Obukulu bwa Katonda
12Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye,
n'apima eggulu n'oluta,
n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera,
n'apima ensozi mu minzaani
n'obusozi mu kipima?#Nge 30:4
13Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo gwa Mukama,
oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza?#Bar 11:34, 1 Kol 2:16
14Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima,
n'amunnyonnyola okumanya,
n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?#Yob 21:22
15Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa,
era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani,
laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.#Is 29:5
16Ne Lebanooni tamala kuba nku,
so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa.#Zab 50:10
17Amawanga gonna galinga si kintu mu maaso ge;
gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.#Zab 62:9, Dan 4:35
18Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?#Is 46:5, Bik 17:29
19Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu,
n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.#Kos 13:2
20Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda;
yeenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka.#Yer 10:3-5
21Temunnamanya? Temunnawulira?
temubuulirwanga okuva ku lubereberye?
temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi?#Bik 14:17, Bar 1:19,20
22Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu,
n'abagituulamu bali ng'amayanzi;
atimba eggulu ng'eggigi,
era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:#Kubal 13:33, Yob 9:8
23afuula abalangira obutaba kintu;
afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya.#Yob 12:21
24Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga;
weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka;
era abafuuwako ne bawotoka,
n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.#Zab 83:13
25Kale ani gwe mulinfaananya
nze okumwenkana? Bw'ayogera Omutukuvu.
26Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe;
ani eyatonda ebyo byonna?
afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli;
byonna abituuma amannya;
olw'obukulu bw'obuyinza bwe,
era kubanga wa maanyi mu kuyinza,
tewali na kimu ekibulako.
27Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo,
n'ogamba, ggwe Isiraeri,
nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama,
n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?
28Tonnamanya? Tonnawulira?
Katonda ataliggwaawo, Mukama,
Omutonzi w'enkomerero z'ensi,
tazirika so takoowa;
amagezi ge teganoonyezeka.#Yob 11:7, Zab 121:4; 147:5
29Awa amaanyi abazirika;
n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30Abavubuka nabo balizirika balikoowa,
n'abalenzi baligwira ddala;
31naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe;
balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa;
balitambula ne batazirika.#Zab 103:5

Currently Selected:

Isaaya 40: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in