Isaaya 40:6-7
Isaaya 40:6-7 LBR
Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo.





