Isaaya 37
37
1Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza engoye ze n'ayambala ebibukutu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.#2 Bassek 19:1-37 2N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. 3Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti, “Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye tewali maanyi ga kubazaala.#Is 22:5, Kos 13:13 4Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, eyatumibwa kabaka w'e Bwasuli okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n'amunenya olw'ebigambo by'awulidde; kale waayo okusaba olw'e ekitundu ekikyasigaddewo.”#Is 1:9 5Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. 6Isaaya n'abagamba nti, “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w'e Bwasuli bye banvumye. 7Laba, ndimusaamu omwoyo awulire olugambo addeyo mu nsi ye, era eyo gye ndimuttira n'ekitala mu nsi ye.’ ”#Is 19:14; 37:38
8Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nti avudde e Lakisi. 9Ate era n'awulira nga boogera nti Tiraka kabaka w'e Kuusi, azze okumulwanyisa. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti#Is 20:5 10“Mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.#Is 36:15 11Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala, mwe munaawona? 12Amawanga bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abantu ba Edeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago baagayamba?#Is 36:18,19 13Ali ludda wa kabaka w'e Kamasi ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Keena ne Yiva?” 14Keezeekiya n'aggya ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama n'agyanjululiza mu maaso ga Mukama. 15Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng'ayogera nti, 16“ Ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka afuga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, ggwe wakola eggulu n'ensi.#Kuv 25:22 17Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso go, ayi Mukama, olabe, owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by'aweerezza okuvuma Katonda omulamu.#Dan 9:18 18Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazisa amawanga gonna n'ensi zaago,#Is 10:13,14 19ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20Kale nno kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.”
21Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, 22kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye:
“Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye
era akusekeredde.
omuwala wa Yerusaalemi
akunyeenyerezza omutwe.
23Ani gw'ovumye gw'ovvodde?
era ani gw'oyimusirizzaako eddoboozi lyo
n'omukanulira n'amaaso?
Mutukuvu wa Isiraeri.
24Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama
n'oyogera nti N'amagaali gange amangi
nnyambuse ku ntikko y'olusozi,
ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni;
era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu,
n'enfugo zaako ezisinga obulungi:
era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo,
ekibira eky'ennimiro ye engimu.#Is 8:7,8; 14:8
25Nsimye enzizi,
era nnywedde amazzi,
era nnakaliza emigga gyonna egy'e Misiri
n'ebigere byange.
26Towuliranga
bwe nnakikola edda ennyo
ne nkibumba okuva ebiro eby'edda?
kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera
obifuule ebifunvu eby'ebyagwa.
27Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono,
baatekemuka ne bakeŋŋentererwa;
ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro
era ng'omuddo omubisi,
ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba,
era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula.
28Naye mmanyi bw'otuula
era bw'ofuluma era bw'oyingira
era bw'onneesalirako akajegere.
29Kubanga onneesalirako akajegere
era kubanga ettitimbuli lyo lintuuseko,
kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n'olukoba lwange mu mimwa gyo,
era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.”#Is 30:28, Am 4:2
30Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero gy'oli, mu mwaka guno munaalya eŋŋaano eyeemeza yokka, ne mu mwaka ogwokubiri era eyeemeza yokka. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ebyo bye musize, era ne mukungula mu nsuku zammwe ez'emizabbibu. 31Ekitundu ekisigaddewo ku nnyumba ya Yuda balisimba emirandira wansi ne babala ebibala waggulu.#Is 27:6 32Mu Yerusaalemi mulibamu abalisigalawo, ne ku lusozi Sayuuni walibaayo abaliwona, obumalirivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.#Is 9:7 33Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti, Talituuka mu kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumaako kifunvu. 34Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka mu kibuga kino, bw'ayogera Mukama. 35Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw'omuddu wange Dawudi.”#2 Bassek 20:6, Is 31:5
36Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.#Is 14:25; 31:8 37Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve. 38Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere.
Currently Selected:
Isaaya 37: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.