YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 34

34
Omusango eri amawanga amalala
1Musembere, mmwe amawanga, okuwulira;
era muwulirize, mmwe abantu,
ensi ewulire n'okujjula kwayo;
ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna,
n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna,
abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya,
n'ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.#Yo 2:20
4N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka,
n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula,
n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera,
ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu,
era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.#Yo 2:31, Mat 24:29, Kub 6:13,14
5Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu;
laba, kirigwa ku Edomu,
ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.#Is 63:1-6, Yer 49:7-22, Mal 1:2-4
6Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi,
kiriko amasavu,
n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi,
n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume.
Kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula,
n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.#Zef 1:7
7N'embogo ziriserengeta wamu nazo,
n'ente wamu ne zisseddume;
n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi,
n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu.
8Kubanga Mukama alina olunaku olw'okuwalana eggwanga,
omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni.#Is 61:2
9N'emigga gyayo girifuuka lunyata,
n'enfuufu yaayo kibiriiti,
n'ensi erifuuka lunyata olw'okya.
10Terizikizibwa misana newakubadde ekiro;
omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna.
emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise;
tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.#Is 66:24, Kub 14:11; 19:3
11Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo;
n'ekiwugulu ne nnamuŋŋoona be banaatuulanga omwo;
era aligireegako omugwa ogw'okwetabula,
n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
12Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo;
n'abalangira baayo bonna baliba si kintu.
13N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo,
emyennyango n'amatovu mu bigo byayo;
era eneebanga nnyumba za bibe,
luggya lwa bamaaya.#Is 13:21,22; 32:13
14N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege,
n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo;
weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo,
ne yeerabira ekiwummulo.
15Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo,
ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo;
weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira,
buli omu wamu ne munne.
16Munoonye mu kitabo kya Mukama musome;
tekulibula ku ebyo na kimu,
tewaliba ekiribulwa kinnaakyo:
kubanga akamwa kange ke kalagidde,
n'Omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
17Era abikubidde obululu,
n'omukono gwe gugigabanyiza n'omugwa;
binaagiryanga ennaku zonna,
emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.#Zab 78:55

Currently Selected:

Isaaya 34: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in