YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 33

33
Omusango eri oyo anyaga Yerusaalemi
1Zikusanze ggwe anyaga,
so nga tonyagibwanga;
era asala enkwe,
so nga tebakusaliranga gwe nkwe!
Bw'olireka okunyaga,
n'olyoka onyagibwa;
era bw'olimalira ddala okusala enkwe,
ne balyoka bakusalira enkwe.#Is 21:2, Kaab 2:8
2Ayi Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira:
beera mukono gwaffe buli nkya,
era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
3Olw'eddoboozi ery'okubwatuka amawanga gadduse;
bw'osituse amawanga gasaasaanye.
4N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya;
ng'enzige bwe zigwa bwe balikugwako bwe batyo.
5Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu;
ajjuzizza Sayuuni obw'enkanya n'obutuukirivu.#Zab 97:9
6Era yaliba omusingi omugumu mu biro byo,
obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya
okutya Mukama bwe bugagga bwe.#Nge 1:7, Is 39:8
7Laba, abazira baabwe bakaabira bweru;
ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga.#2 Bassek 18:37
8Enguudo zizise,
omutambuze aggwaawo;
amenye endagaano,
anyoomye ebibuga,
tassaayo mwoyo eri abantu.#Balam 5:6, 2 Bassek 18:14-17
9Ensi ewuubaala eyongobera;
Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka;
Saloni ali ng'eddungu;
ne Basani ne Kalumeeri bawaatula.
10Kaakano n'agolokoka, bw'ayogera Mukama;
kaakano nnaagolokoka;
kaakano nnaagulumizibwa.#Zab 12:5
11Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi,
omukka gwammwe muliro ogulibookya.
12N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi;
ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.
13Muwulire, mmwe abali ewala, bye nkoze;
nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange.
14Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde;
okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda.
Ani ku ffe alituula awamu n'omuliro ogwokya?
ani ku ffe alituula awamu n'okwokya okutaliggwaawo?#Is 66:15, Beb 12:29
15Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima;
oyo anyooma amagoba agava mu kujooga,
akunkumula engalo ze obutakwata nguzi,
aziba amatu ge obutawulira musaayi,
era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;#Zab 24:4; 119:27
16oyo ye alituula waggulu;
ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja;
emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.#Is 30:23,25
17Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe;
galiraba ensi eziyimirira ewala.#Is 6:5
18Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa;
ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo?
ali ludda wa oyo eyabala ebigo?#2 Bassek 18:14
19Toliraba ggwanga kkakali,
eggwanga eririna enjogera enzibu gy'otoyinza kumanya;
eririna olulimi olunnaggwanga lw'otoyinza kutegeera.#Ma 28:49,50, Is 28:11, Yer 5:15
20Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe;
amaaso go galiraba Yerusaalemi
nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa,
enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna,
so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa.
21Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu,
ekifo eky'emigga emigazi n'ensulo;
omutaliyita lyato erivugibwa,
so n'ekyombo ekinene tekirigendamu.#Zab 46:4,5
22Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama ye muteesi w'amateeka gyetuli,
Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola.#1 Sam 12:12, Zek 9:9, Yak 4:12
23Emigwa gyo egisiba gisumulukuse;
tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe,
tebayinza kuwanika ttanga:
awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene;
abawenyera baatwala omunyago.
24N'oyo atuulamu talyogera nti, “ Ndi mulwadde,”
abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.

Currently Selected:

Isaaya 33: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in