Isaaya 33:15-16
Isaaya 33:15-16 LBR
Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi; oyo ye alituula waggulu; ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja; emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.





