Isaaya 2
2
Olunaku lwa Mukama
1 #
Mi 4:1-3
Ekigambo Isaaya mutabani wa Amozi kye yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma,
olusozi olw'ennyumba ennyumba ya Mukama
luligulumizibwa okukira ensozi;
era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.#Is 56:7
3Era amawanga mangi agalyambuka ne googera
nti, Mujje, twambuke eri lusozi lwa Mukama,
eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo,
era anaatuyigirizanga ku makubo ge,
naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze;
kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka,
n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.#Zek 8:20-23, Luk 24:47
4Era aliramula mu amawanga,
era alinenya abantu bangi;
era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi,
n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo:
eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo,
so tebaliyiga kulwana nate.#Zab 72:7, Zek 9:10
Ennyumba ya Yakobo Eyitibwa Okwenenya
5Mmwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.
6Kubanga waleka abantu bo,
ennyumba ya Yakobo,
kubanga bajjudde abasawo okuva ebuvanjuba,
era balaguzi nga Abafirisuuti,
era bakuba mu ngalo ne bannamawanga.#Ma 18:14, 2 Bassek 1:2; 16:7,8,11,12
7Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu,
so n'obugagga bwabwe tebuliiko kkomo.
Era ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
so n'amagaali gaabwe tegaliiko kkomo.
8Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi;
basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe bo gwe zaakola.#Yer 2:28
9Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza:
kyova olema okubasonyiwa.
10Yingira mu lwazi,
weekweke mu nfuufu,
mu maaso g'entiisa ya Mukama,
ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe.#2 Bas 1:9
11Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa,
n'amalala g'abantu galikutamizibwa,
era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye
eri byonna ebyekuza ebirina amalala,
n'eri byonna ebigulumizibwa era biriwanulibwa.#Yob 40:11,12
13N'eri enfugo zonna eze Lebanooni,
empavu ezigulumizibwa,
n'eri emivule gyonna egy'e Basani.#Zek 11:1,2
14n'eri ensozi zonna Empavu,
n'eri obusozi bwonna obugulumivu;
15n'eri buli kigo ekiwanvu,
na buli bbugwe omugumu.
16n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi,
n'eri ebifaananyi byonna ebirungi.#1 Bassek 10:22
17Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa,
n'amalala g'abantu galiwanulibwa;
era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18N'ebifaananyi biriggweerawo ddala.
19Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja,
ne mu bunnya obw'ettaka,
okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama,
ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe,
bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.#Kag 2:6
20Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
ebifaananyi byabwe eby'effeeza n'ebifaananyi byabwe eby'ezaabu,
bye beekolera okusinzanga,
eri emmese ne binyira,#Is 30:22; 31:7
21bagende mu mpuku ez'amayinja,
ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu,
okuva mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe,
bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
22Muleke abantu,
omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe,
kiki ennyo kye bali?#Lub 2:7, Zab 14:4, Am 3:10
Currently Selected:
Isaaya 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.