Isaaya 19
19
Obunnabbi eri Misiri
1Omugugu gwa Misiri.
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
n'ajja mu Misiri;
n'ebifaananyi eby'e Misiri birikankanira mu maaso ge,
n'emitima gy'Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.#Kuv 12:12, Is 13:7, Yer 46:13-26, Ez 29:1—31:2; 31:18
2Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri,
era balirwana buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka.
3N'omwoyo gw'Abamisiri gulibaggwaamu,
nditta entegeka zaabwe zonna;
era baliragulwa eri ebifaananyi, n'eri abasamize,
n'eri abo abaliko emizimu, n'eri abalogo.
4Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw'omufuzi omukambwe;
era kabaka ow'entiisa alibafuga,
bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.#Ez 30:12
5N'amazzi ga Kiyira galikendeera,
n'omugga guliweebuuka ne gukala.
6N'obukutu bwagwo buliwunya ekivundu,
obugga bwa Kiyira e Misiri bulikeewa ne bukala,
ebitoogo n'essaalu biriwotoka.
7Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira,
ne byonna ebyasigibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8Era n'abavubi balikungubaga ne bakaaba,
n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira,
balinakuwala,
n'abo abatega obutimba mu mazzi baliggwaamu amaanyi.
9Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule,
n'abo abaluka engoye enjeru, balikeŋŋentererwa.
10Abo, empagi zaabwe balisaanyizibwawo,
abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu myoyo.
11Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala;
n'abagezigezi ba Falaawo bateesa bya busiru.
mugamba mutya Falaawo
nti, “ Ndi mwana wa bagezi,
omwana wa bassekabaka ab'edda?”
12Kale nno abasajja bo ab'amagezi bali ludda wa?
era bakubuulire kaakano;
era bategeere Mukama ow'eggye ky'ateesezza ku Misiri.#Bik 7:22, Ma 32:9, Is 29:23, Kos 2:23, Bar 3:29
13Abakulu ab'e Zowani basiruwadde,
abakulu ab'e Noofu balimbiddwa;
Abo ejjinja ery'oku nsonda ery'ebika byayo,
abo be bakyamizza Misiri.
14Mukama atadde omwoyo
ogw'obubambaavu mu abo,
era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gwayo,
ng'omutamiivu atagatta ng'asesema.
15So tewaliba mulimu gwonna gwa Misiri
oguyinzika okukolebwa omutwe oba mukira, olusansa oba kitoogo.
16Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi, era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, ogugoloddwa ku yo. 17N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo.
18Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano (5) mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birirayira Mukama ow'eggye. Ekimu kiriyitibwa Kibuga kya kuzikirira.
19Ku lunaku luli waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi ya Mukama eriba ku nsalo yaayo. 20Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola. 21Era Mukama alimanyibwa Misiri, n'Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n'ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza. 22Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya.
23Ku lunaku luli waliba oluguudo oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n'Omwasuli alijja mu Misiri, n'Omumisiri mu Bwasuli; n'Abamisiri balisinziza wamu n'Abaasuli.
24Ku lunaku luli Isiraeri eriba ya kusatu wamu ne Misiri n'Obwasuli, okuba ab'omukisa wakati mu nsi: 25kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.
Currently Selected:
Isaaya 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: