Isaaya 18
18
Obunnabbi eri Kuusi
1Zikusanze, ggwe ensi ey'ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
eri emitala w'emigga gya Kuusi;
2etuma ababaka ku Kiyira,
ne bagendera mu bibaya ku mazzi!
Mugende, mmwe ababaka abangu,
eri eggwanga eririna abantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu,
eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa;
eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala,
ensi eyawulwamu emigga.
3Mmwe mwenna abatuula mu nsi,
nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi,
ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mutunulanga,
era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.
4Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti,
“Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde;
ng'olubugumu olutemagana mu musana,
ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu olw'omu biro eby'amakungula.”
5Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde,
n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera,
aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo,
n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.#Ez 31:3,12,13
6Gonna galirekerwa
ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi
n'ensolo ez'ensi,
era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya,
n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako mu ttoggo.
7Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye
okuva mu bantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu,
n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa;

ensi eyawulwamu emigga,
ku lusozi Sayuuni, ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye.#2 Sam 7:13, Zab 68:31, Zef 3:10
Currently Selected:
Isaaya 18: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: