YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 17

17
Obunnabbi eri Ddamasiko ne Isiraeri
1Omugugu gwa Ddamasiko.
Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga,
era kiriba ntuumu eky'ebyagwa.#2 Bassek 16:9, Yer 49:23-27, Am 1:3-5
2Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo,
biriba malundiro ga bisibo,
mwe binaagalamiranga nga tewali abikanga.
3Ekigo kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
n'obwakabaka mu Ddamasiko bulivaawo,
n'abalifikkawo mu Busuli;
baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye.#1 Sam 4:21, Is 7:16; 8:4
4Awo olulituuka ku lunaku luli
ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa,
era alikoga.#Is 10:16
5Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera
n'omukono gwe ne gukungula ebirimba;
weewaawo, kiriba ng'omuntu bw'alonda ebirimba
mu kiwonvu kya Lefayimu.
6Naye mulisigalamu ebirondebwa,
ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera,
ebibala ebibiri oba bisatu (3)
waggulu ku busongezo obukomererayo,
bina oba bitaano (5)
ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri.#Is 24:13
7Ku lunaku luli abantu balirowooza, Omutonzi waabwe, n'amaaso ge galikyukira Omutukuvu owa Isiraeri.#2 Byom 30:11, Kos 5:15, Mi 7:7 8So tebalirowooza ku byoto byabwe, omulimu gw'emikono gyabwe, so tebalirowooza kw'ebyo bye bakola n'engalo zaabwe, oba ku Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubane.#Is 27:9,10, Mi 5:13,14
9Ku lunaku luli ebibuga byabwe eby'amaanyi abaana ba Isiraeri bye baabalesa, biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, era biriba nsiko.
10Kubanga weerabidde Katonda ow'obulokozi bwo,
so tojjukidde lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby'okusanyusa,
n'osigamu ebimera ebigenyi,#Zab 106:21
11wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw'obisimbye,
enkya omerusa ensigo zo;
naye ebikungulwa birikuddukako,
ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu.
12Woowe, oluyoogaano lw'amawanga amangi,
agawuluguma ng'okuwuluguma kw'ennyanja;
Okuwuluguma kw'amawanga,
agawulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi ag'amaanyi!
13Amawanga gawuluguma ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi
naye alibanenya, nabo baliddukira wala,
era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo,
era ng'enfuufu ey'etooloola mu kibuyaga akunta.#Zab 1:4; 9:5; 83:13, Nge 22:23
14Akawungeezi, laba, ntiisa;
era obudde nga tebunnakya nga tebaliiwo.
Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga,
era ye mpeera y'abo abatutwalako ebyaffe.

Currently Selected:

Isaaya 17: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in