Isaaya 15
15
Obunnabbi eri Mowaabu
1Omugugu gwa Mowaabu.
Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
kirimalibwawo.
Mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu nakyo kirizikirizibwa
kirimalibwawo.#Yer 48:1-47
2Abantu b'e Diboni bambuse,
ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga;
Mowaabu akungubagira
Nebo ne Medeba.
Ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata,
buli kirevu kimwereddwa.
3Beesibye ebibukutu mu nguudo zaabwe,
waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe
buli muntu akuba ebiwoobe, ng'akaaba nnyo amaziga.
4Kesuboni ne Ereyale bakaaba,
eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi;
basserikale ba Mowaabu kyebaava boogerera waggulu;
obulamu bwe bukankana mu nda mu ye.
5Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
abakungu be baddukira e Zowaali,
e Yegulasuserisiya,
kubanga awayambukirwa e Lukisi
gye balinnyira nga bakaaba amaziga;
kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu
okukaaba okw'okuzikirira.
6Kubanga amazzi ag'e Nimulimu
galirekebwawo,
kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo,
tewali kintu kimera.
7Ebintu ebingi bye bafunye
n'ebyo bye baterese
kyebaliva babitwala
eri omugga ogw'enzingu.
8Kubanga okukaaba kwetoolodde
ensalo za Mowaabu;
okukaaba kwakwo kutuuse e Yegulayimu,
n'ebiwoobe bituuse e Beererimu.
9Kubanga amazzi ag'e Diboni gajjudde omusaayi:
kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Diboni,
empologoma ku oyo awona ku Mowaabu,
ne ku abo abalifikkawo ku nsi.
Currently Selected:
Isaaya 15: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.