Isaaya 14
14
1Mukama alisaasira Yakobo, era, aliddamu okulonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo. Bannamawanga balibeegattako babeerere ddala ba mu nnyumba ya Yakobo.#2 Byom 36:22,23, Zab 102:13, Zek 1:17; 8:22,23 2N'amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n'ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba abaddu n'abazaana, era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.#Is 49:22; 60:14; 61:5
3Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza, 4awo oligera olugero luno ku kabaka w'e Babbulooni n'oyogera nti,
“Omujoozi ng'aweddewo!
ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo!#Is 13:9, Yer 51:13
5Mukama amenye omuggo ogw'ababi,
omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga;#Is 9:4
6ogwakubanga amawanga n'obusungu olutata,
ogwafuganga amawanga n'ekiruyi,
ne gubayiggannyanga nga tewali muntu yenna aguziyiza.
7Ensi yonna ewummudde, era eteredde;
babaguka okuyimba.#Is 55:12
8Weewaawo, enfugo zikusanyukira,
n'emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti,
‘Kasookedde ogalamizibwa,
tewabangayo ajja kututema.’#Is 37:24, Ez 31:16
9Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
okukusisinkana ng'ojja:
gagolokosa abafu ku lulwo,
abakulu bonna ab'ensi;
gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga
okuva ku ntebe zaabwe.#Ez 32:21
10Abo bonna baliddamu
ne bakugamba
nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe!
Ofaanana nga ffe!
11Ekitiibwa kyo kissibwa emagombe,
n'eddoboozi ly'ennanga zo;
envunyu zaaliiriddwa wansi wo,
n'ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12Ng'ogudde okuva mu ggulu,
ggwe emmunyeenye ey'enkya, omwana w'enkya!
ng'otemeddwa n'ogwa ku ttaka,
ggwe eyamegganga amawanga!
13Wayogera mu mutima gwo nti,
‘Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
okusinga emmunyeenye za Katonda;
era ndituula ku lusozi olw'ekibiina,
ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiikakkono;#Yer 51:53, Dan 8:10, Mat 11:23
14ndirinnya okusinga ebire we bikoma;
ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.’#2 Bas 2:4
15Naye olissibwa emagombe,
ku ntobo y'obunnya.#Ez 32:23, Mat 11:23
16Abo abanaakulabanga banaawunikiriranga,
banaakulowoozanga, nga boogera nti,
Ye wuuno eyakankanyanga ensi,
eyanyeenyanga obwakabaka,
17Eyazisanga ensi yonna,
n'asuula ebibuga byamu;
ataatanga basibe be okudda ewaabwe?#Yer 50:33
18Bakabaka bonna ab'amawanga, bagalamidde mu kitiibwa,
buli muntu mu nnyumba ye ye.
19Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go
ng'ettabi erikyayibwa,
ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala,
abakka mu mayinja ag'obunnya;
ng'omulambo ogulinnyiriddwa.
20Toligattibwa nabo mu kuziikibwa,
kubanga wazikiriza ensi yo,
n'otta abantu bo;
ezzadde ly'abo abakola obubi
teriryogerwako ennaku zonna.#Zab 21:10
21Mutegekere abaana be okuttibwa
olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe;
baleme okugolokoka, ne balya ensi,
ne bajjuza ensi yonna ebibuga.#Kuv 20:5
22“Nange ndibagolokokerako,” bw'ayogera Mukama ow'eggye, “ Ne mmalawo mu Babbulooni erinnya lye, n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.”#Yob 18:19, Yer 51:62 23Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye.#Is 34:11
Obunnabbi eri Bwasuli
24Mukama ow'eggye alayidde,
ng'ayogera nti, “Mazima nga bwe nnalowooza,
bwe kirituukirira bwe kityo;
era nga bwe nnateesa,
bwe kirinywera bwe kityo;
25ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange,
kale ekikoligo kye kiribavaako,
n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe.#Is 10:27
26Okwo kwe kuteesa okwateesebwa
ku nsi yonna,
era ogwo gwe mukono ogwagololwa
ku mawanga gonna.
27Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa,
era ani alikijjulula?
n'omukono gwe gugoloddwa,
era ani aliguzzaayo?”#Nge 19:21, Yer 4:28, Dan 4:35
Obunnabbi eri Bufirisuuti
28Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno.#2 Bassek 16:20
29Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, yonna,
kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba,
kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa,
n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.
30N'ababereberye ab'abaavu balirya,
n'abatalina bintu baligalamira mirembe;
era nditta ekikolo kyo n'enjala,
n'ababo abalifikkawo balittibwa.
31Kuba ebiwoobe, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga;
osaanuuke, olw'entiisa ggwe Bufirisuuti, yonna!
kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.#Is 20:1
32Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga?
Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni,
ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.#Is 28:16, Zef 3:12
Currently Selected:
Isaaya 14: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.