YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 13

13
Okusala omusango era n'ekisa kya Katonda eri ensi
(13:1—27:13)
Obunnabbi eri Babbulooni
1Omugugu gwa Babbulooni, Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba
2Muwanike ebendera ku lusozi olw'erere,
mubayimusize eddoboozi,
mubawenye bayingire mu miryango
egy'abakungu.#Is 5:26
3Ndagidde abawonge bange,
weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi babonereze
abeenyumiriza n'amalala.
4Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi,
ng'olw'eggwanga eddene!
oluyoogaano lw'obwakabaka,
obw'amawanga nga gakuŋŋaanye!
Mukama ow'eggye ateekateeka
eggye olw'olutalo.
5Bava mu nsi y'ewala,
ku nkomerero y'eggulu,
Mukama mu busungu aleese eby'okulwanyisa,
okuzikiriza ensi yonna.
6Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi;
lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.#Yo 1:15, Zef 1:7
7Emikono gyonna kyegiriva giggwamu amaanyi,
na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka:#Yer 6:24, Nak 2:10
8era balikeŋŋentererwa;
okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata;
balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala:
balitunulaganako nga bawuniikiridde;
amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
9Laba, olunaku lwa Mukama lujja,
olubi ennyo, olw'ekiruyi n'obusungu;
okuzisa ensi,
n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
10Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo
tebiryaka kwaka kwabyo:
enjuba erizikizibwa ng'evaayo,
n'omwezi nagwo tegulyaka.#Ez 32:7, Yo 3:15, Mak 13:24
11Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwayo,
n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe;
era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala,
era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
12Ndifuula abantu okuba abebbula okusinga ezaabu ennungi,
omuntu okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri.
13Kyendiva nkankanya eggulu,
n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo,
mu busungu bwa Mukama ow'eggye,
ne ku lunaku olw'ekiruyi kye.#Kag 2:6
14Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa
oba ng'endiga ezitaliiko musumba,
buli muntu aliddukira eri abantu be,
era buli muntu aliddukira mu nsi ye waabwe.#Yer 50:16; 51:9
15Buli anaalabikanga anaafumitibwanga;
na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala.
16N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe;
ennyumba zaabwe zirinyagibwa,
n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi.#Nak 3:10
17Laba, ndibaleetako Abameedi,
abatalissaayo mwoyo eri effeeza,
n'ezaabu nga tebasikiriza.#Yer 51:11
18Obusaale bwabwe bulitta abavubuka;
so tebalisaasira bawere,
amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19Ne Babbulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka,
obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya,
kiriba nga Sodoma ne Ggomola
Katonda bye yasuula.#Is 47:5, Yer 50:40
20Tekisulibwenga mu ennaku zonna,
so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe:
so n'Omuwalabu taasimbengayo weema;
so n'abasumba tebaagalamizengayo magana gaabwe#Yer 51:43
21Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda;
ne bamaaya banaabeerangayo,
n'ebikulekule binaaziniranga eyo.#Is 34:13,14
22N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe,
n'ebibe mu mbiri zaabwe;
n'ekiseera kyakyo kiri kumpi okutuuka,
so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.

Currently Selected:

Isaaya 13: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in