YouVersion Logo
Search Icon

Kaabakuuku 3

3
Okusaba Kwa Kaabakuuku (3:1-19)
1Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi.
2Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo n'entya;
Ayi Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka,
Gumanyise wakati mu myaka;
Awali obusungu, jjukira okusaasira.#Zab 44:1; 85:6
3Katonda yajja ng'ava e Temani,
Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani,
Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu,
era ensi n'ejjula ettendo lye. Seera
4N'okumasamasa kwe kwali ng'ekitangaala;
Okumyansa kwava mu mukono gwe,
Era omwo mwe yakweka amaanyi ge.#Ez 1:27
5Okuzikirira kwamukulemberamu,
kawumpuli n'amuvaako emabega.#1 Byom 21:11-15, Zab 18:8
6Yayimirira n'agera ensi;
Yatunula n'ayugumya amawanga
Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana,
Obusozi obutaggwaawo ne bukutama;
Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga edda.#Lub 49:26, Zab 60:6, Is 51:9, Mi 1:4
7Nnalaba eweema za Kusani nga ziri mu nnaku;
Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana.#Balam 3:10; 8:12
8Mukama yanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku migga,
Oba ekiruyi kyo kyali ku nnyanja,
N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo,
N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?#Ma 33:26, Zab 18:10; 114:5, Is 66:15
9Omutego gwo gwasowolerwa ddala;
Ebirayiro bye walayirira ebika byali bigambo bya nkalakkalira. (Seera)#Zab 78:15,16
Ensi wagyasaamu n'emigga.
10Ensozi zaakulaba ne zitya;
Amataba ag'amazzi ne gayitawo,
Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo,
N'esitula amayengo gaayo waggulu.#Kuv 14:22; 19:18, Zab 93:3
11Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera;
Olw'ekitangaala ky'obusaale bwo ne bidduka,
Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.#Yos 10:12,13, 2 Sam 22:15
12Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi,
N'olinyirira amawanga mu busungu.#Mi 4:12,13
13Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi,
Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omutwe gw'omubi,
N'asigala bwereere okuva ku bisambi okutuuka ku nsingo (Seera).#Zab 105:15; 110:6
14Wafumita n'amafumu omutwe gw'abalwanyi be;
Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya,
Okusanyuka nga agenda okulya omwavu mu kyama.
15Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo,
Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi.#Zab 77:19
16Mpulira, era omubiri gwange gukankana,
Emimwa gyange ne gijugumira olw'eddoboozi;
Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange,
ne nkankanira mu kifo kyange,
Nja kulinda mu kasirise olunaku olw'okulabiramu ennaku,
Bwe zirijja eri abantu abatutabaala.#Is 14:3,4, Yer 4:19
17Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya,
So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala;
Emizeyituuni ne bwe gifa, era nga bateganira bwereere,
Ennimiro ne bwezitaleeta mmere yonna;
Embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo,
So nga tewali na nte mu biraalo,
18Era naye ndisanyukira Mukama,
ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange#Yob 13:15, Zab 9:14, Luk 1:47
19Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange,
Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo,
Era alintambuliza ku bifo ebigulumivu.#Ma 32:13, 2 Sam 2:18, Is 38:20 Ya mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

Currently Selected:

Kaabakuuku 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in