YouVersion Logo
Search Icon

Kaabakuuku 2

2
Mukama Ayanukula Kaabakuuku
1Nditwala oluwalo lwange, ne nnyimirira we nkuumira ne nneeteka ku munaala, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era ne bye n'addamu ebikwata ku by'okwemulugunya kwange.#Zab 85:8, Is 21:8 2Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo okwole bulungi ku bipande,” alyoke adduke mbiro oyo abisoma.#Is 30:8, Dan 10:14, 2 Peet 3:9 3Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, tekulirimba, bwe kuba nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo. 4Laba oyo emmeeme ye nga si ngolokofu, aliremererwa, naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.#Bar 1:17, Bag 3:11
Okuzikirira kw'Aboonoonyi
5“Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, omusajja owa malala tayinza kuyimirira. Omululu gwe mugazi nga amagombe, ng'okufa, takkutanga, yekuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, era ateeka wamu abantu bonna nga ababe.”#Nge 27:20, Beb 10:38, Is 5:14, Dan 2:37,38 6Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti, “Zimusanze oyo eyeetuumako ebyo ebitali bibye! Alituusa wa? Era eyeebinika emisingo!”#Is 5:8, Mi 2:4, Zek 1:12 7Tebalisituka abakubanja nga totegedde, tebalizuukuka abalikweralikiriza? Naawe olibeera munyago gwabwe. 8Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga ago naawe balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'obukambwe bwe wakola ku nsi, n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.#Is 33:1
Ennyumba n'Amagoba Amabi
9Zimusanze oyo afuna ennyumba ye ku magoba amabi, azimba ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi!#Is 14:13; 49:16 10Oleteedde ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.#Kubal 16:38 11Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga linsinzira mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga gusinziira mu misekese.#Yos 24:27, Luk 19:40
Azimba Ekibuga n'Omusaayi
12Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, era atandika ekibuga ku butali butuukirivu!#Mi 3:10 13Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okwekooyeeseza obwereere?#Yer 51:58 14Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.#Zab 72:19, Is 11:9
Okuswaza Abalala
15Zimusanze oyo awa baliraanwa be eby'okunywa ku kikompe eky'obukambwe, n'abatamiiza alyoke atunuulire ensonyi zaabwe!#Yer 51:7, Kung 4:21 16Ojjudde ensonyi mu kifo ky'ekitiibwa, nywa era otagatte! ekikompe ekiri mu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa gyoli, n'ensonyi zirisaanikira ekitiibwa kyo!#Yer 25:15, Nak 3:5,6 17Kubanga obukambwe obw'akolebwa ku Lebanooni bulikusuukirirako, n'okuzikirira kw'ensolo ku likutiisa, olw'omusaayi gw'abantu n'obukambwe eby'akolebwa ku nsi n'ebibuga ne bonna ababituulamu.#Yer 22:23
Ebifaananyi Ebitagasa
18Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Omukozi waakyo n'okwola n'akyola, ekifaananyi ekisaanuuse, n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki? Kubanga omukozi w'omulimu yeesiga ekyo ky'akoze, bw'akola ebifaananyi ebitayogera!#Is 44:10, Yer 10:8,14, 1 Kol 12:2 19Zimusanze oyo agamba ekintu eky'omuti nti, “Zuukuka!” Era agamba ejjinja eritayogera nti, “Golokoka!” Kino kiyinza okuvaako okubikkulirwa? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, naye tekirimu mukka gwa bulamu mu kyo.#1 Bassek 18:26,27, Zab 135:17 20Naye Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; ensi zonna zisirike mu maaso ge.#Zab 11:4, Zek 2:13

Currently Selected:

Kaabakuuku 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in