Olubereberye 49
49
Okulaama kwa Yakobo
1Yakobo n'ayita batabani be, n'ayogera nti, “Mukuŋŋaane mbategeeze ebiribatuukako gye bujja.
2“Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe
batabani ba Yakobo;
Muwulire Isiraeri kitammwe.
3Lewubeeni, ggwe mwana wange omubereberye,
ow'obuvubuka bwange,
era amaanyi gange mwe gaasookera;
Asinga amalala n'okwekulumbaza#Lub 29:32, Ma 21:17; 33:6
4Atafugika ng'amazzi agawaguzza;
toliba mukulu;
Kubanga walinnya ku kitanda
kya kitaawo;
N'okigwagwawaza,
Weebaka mu buliri bwange.#Lub 35:22, Ma 27:20, 1 Byom 5:1
5Simyoni ne Leevi ba luganda;
Ebitala byabwe bya kulwanyisa
bya maanyi.#Lub 29:33,34; 34:25,26, Ma 33:8-11
6Ggwe emmeeme yange,
tojjanga mu lukiiko lwabwe;
Ggwe ekitiibwa kyange,
teweegattanga n'ekibiina kyabwe;
Kubanga olw'obusungu bwabwe
batta omusajja,
N'olw'eddalu lyabwe baatema
ente olunywa.#Zab 26:6
7Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
N'obukambwe bwabwe,
kubanga bwa ttima;
Ndibaawula mu Yakobo,
Ndibasaasaanya mu Isiraeri.#Yos 19:1,9; 21:1-3, 1 Byom 4:31; 4:38-43
8Yuda, ggwe baganda bo
banaakutenderezanga;
Omukono gwo gunaabanga ku
bulago bw'abalabe bo;
Abaana bakitaawo banaakuvuunamiranga.#Lub 29:35, Ma 33:7, 1 Byom 5:2
9Yuda, olinga omwana gw'empologoma;
Okomyewo mwana wange, ng'ova okuyigga.
Yakutama, yabwama ng'empologoma ensajja,
Oba ng'empologoma enkazi;
ani anaagisaggula?#Kubal 24:9, Kub 5:5
10Omuggo ogw'obwakabaka teguveenga mu Yuda,
Era bazzukulu be banaafuganga
Okutuusa Siiro lw'alijja,
Era oyo abantu gwe banaawuliranga.#Kubal 24:17, Zab 60:7; 108:8
11Alisiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu,
N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi;
Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'ezzabbibu;
12Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge,
N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata.#Ma 21:17; 33:6
13Zebbulooni anaatuulanga ku lubalama lw'ennyanja;
Anaabanga omwalo ogw'amaato;
N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni.#Lub 30:20, Ma 33:18,19
14Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi,
Egalamira awali ebisibo by'endiga:#Lub 30:18, Ma 33:18,19
15N'alaba okuwummula nga kulungi,
N'ensi nga ya kwesiima;
N'akutamya ekibegabega kye okwetikka,
N'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.
16Ddaani, ng'ekimu ku bika bya Isiraeri,
anaasaliranga abantu be emisango,#Lub 30:6, Ma 33:22
17Ddaani anaabanga omusota mu luguudo,
Embalasaasa mu kkubo,
Eruma embalaasi ebinuulo,
agyebagadde n'awanukako n'agwa.#Balam 18:27
18Nindiridde obulokozi bwo,
ayi Mukama.#Zab 25:5; 62:5, Is 25:9, Mi 7:7
19Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza;
Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.#Lub 30:10,11, Ma 33:20
20Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere.
Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka.#Lub 30:12,13, Ma 33:24,25
21Nafutaali ye mpeewo etaayaaya
ezaala abaana bayo abalungi.#Lub 30:7,8, Ma 33:23
22Yusufu gwe muti ogubala ennyo.
Oguli okumpi n'ensulo y'amazzi;
Amatabi gaagwo gaagaagalidde waggulu w'ekisenge.#Lub 30:23,24; 41:52
23Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo,
Baamulasa, baamuyigganya;#Lub 37:24; 39:20
24Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi,
N'emikono gye ne giweebwa amaanyi,
agava eri ow'Obuyinza
Katonda wa Yakobo
Omusumba era olwazi Isiraeri.#Yob 29:20, Zab 80:1; 132:2,5, Is 1:24; 28:16
25Ye Katonda wa kitaawo,
anaakubeeranga,
Ye Muyinza w'ebintu byonna,
anaakuwanga omukisa,
Omukisa oguva mu ggulu waggulu,
N'omukisa oguva wansi mu nnyanja,
N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa#Lub 35:3,11, Ma 33:13
26Omukisa gwa kitaawo
Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajjange
Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero
ey'ensozi ezitaliggwaawo;
Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu
Ne ku bwenyi bw'oyo eyayawulibwa okuva ku baganda be.#Ma 33:15,16
27Benyamini gwe musege ogunyaga;
Enkya anaalyanga omuyiggo,
Era akawungeezi anaagabanga omunyago.”#Lub 35:18, Ma 33:12, Balam 20:21,25
28Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri (12); n'ebigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu kubo omukisa ogwamusaanira.
Okufa n'okuziikibwa kwa Yakobo
29Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti, “Bwe ndifa muntwalanga ku butaka, ne mu nziika awali bajjajjange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,#Lub 23:9 30eri e Makupeera, mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro, okuba obutaka obw'okuziikangamu.#Lub 23:16-18 31Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya.#Lub 23:19; 25:9; 35:29 32Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku baana ba Keesi.” 33Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'agalamira ku kitanda kye, n'assa omukka gwe ogw'enkomerero. N'atwalibwa eri abantu be.#Bik 7:15
Currently Selected:
Olubereberye 49: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.