Olubereberye 49:24-25
Olubereberye 49:24-25 LBR
Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gye ne giweebwa amaanyi, agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo Omusumba era olwazi Isiraeri. Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva wansi mu nnyanja, N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa