YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 3

3
Okuggwa kw'Omuntu
1N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’”#Mat 10:16, Kub 12:9; 20:2 2Omukazi n'agamba omusota nti, “Tuyinza okulya ku bibala eby'emiti egy'omu lusuku; 3naye Katonda yagamba nti, ‘temulyanga ku bibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, newakubadde okugukwatangako muleme okufa.’”#Lub 2:17 4Omusota ne gugamba omukazi nti, “Okufa temulifa.#2 Kol 11:3 5Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.” 6Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.#Kos 6:7, Bar 5:12, 1 Tim 2:14 7Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne bategeera nga baali bwereere; ne batunga amakoola g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
8Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'akawungeezi, omusajja ne mukazi we ne beekweka wakati mu miti egy'omu lusuku, Mukama Katonda aleme okubalaba.#Yob 31:33, Zab 139:1-12, Yer 23:23,24 9Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba nti, “Oli ludda wa?” 10N'addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”#Yob 23:15 11N'amubuuza nti, “Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?” 12Omusajja n'addamu nti, “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala eky'oku muti, ne ndya.”#Nge 28:13 13Mukama Katonda n'agamba omukazi nti, “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayogera nti, “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.”
Mukama Katonda awa ebibonerezo
14Mukama Katonda n'agamba omusota nti,
“Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo zonna
ezifugibwa awaka,
n'ez'omu nsiko.
Oneekululiranga ku lubuto,
era onoolyanga nfuufu
ennaku zonna ez'obulamu bwo;#Is 65:25, Mi 7:17
15nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi,
era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi;
alikubetenta omutwe gwo,
naawe olibetenta ekisinziiro kye.”#Is 7:14, Mat 1:23,25, Luk 1:34, Bar 16:20, Bag 4:4, Kub 20:1-3
16N'agamba omukazi nti,
“Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana;
mu bulumi mwonoozaaliranga abaana;
n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo,
naye anaakufuganga.”#Yok 16:21, 1 Kol 11:3, Bef 5:22-24, Tit 2:5
17N'agamba Adamu nti,
“Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo,
n'olya ku muti
gwe nnakulagira nga njogera nti,
‘Togulyangako,’
ensi ekolimiddwa ku lulwo;
mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;#Lub 5:29, Mub 2:22,23, Bar 8:20-22
18amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga;
naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro.
19Mu ntuuyo ez'omu maaso go
mwonooliiranga emmere,
okutuusa lw'olidda mu ttaka;
kubanga omwo mwe waggyibwa;
kubanga oli nfuufu ggwe,
ne mu nfuufu mw'olidda.”#Lub 2:7, Yob 34:15
20Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu. 21Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
Katonda agoba Adamu ne Kaawa mu Lusuku
22Mukama Katonda n'ayogera nti, “Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe.”#Lub 2:9; 3:5 23Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.#Lub 2:8, Zab 104:4, Beb 1:7

Currently Selected:

Olubereberye 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy