YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 36

36
1“Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina obusobozi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.”#Kuv 31:2,6; 35:10, Yob 32:8, Nge 2:6
2Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina obusobozi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe; buli muntu nga bwe yakubirizibwa mu mutima gwe okujja okukola omulimu. 3Musa n'abawa eby'okukozesa, abaana ba Isiraeri bye baaleeta olw'okukola emirimu egy'omu watukuvu. Era buli nkya ne baleetanga ebintu, bye bawangayo oby'okukozesanga nga tebawalirizibbwa.#Kuv 35:24-29 4N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola; 5ne bagamba Musa nti, “Abantu baleeta bingi ne basukkiriza kw'ebyo ebyetaagisa okukola omulimu Mukama gwe yalagira.”#2 Kol 8:2,3 6Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna nti, “Omusajja era n'omukazi balekere awo okuleeta ebintu eby'okukozesa omulimu ogw'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta ebintu. 7Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo.”
8“Na buli muntu eyalina obusobozi, eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bagitungako bakerubi.#Kuv 26:1-4 9Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda gyonna gyali gya kigero kimu. 10N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka, era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka. 11N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 12Yakola eŋŋango ataano (50) ku mutanda gumu, n'eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zatunuuliragana zokka na zokka. 13Era n'akola ebikwaso ebya zaabu ataano (50), n'agatta emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso; eweema n'ebeera emu. 14Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema; yakola emitanda kkumi na gumu (11). 15Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) gyali gya kigero kimu. 16N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka. 17N'akola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango ataano (50) n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 18Era n'akola ebikwaso ataano (50) eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu. 19Era n'akolera weema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.”
20Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira.#Kuv 26:15-29 21Emikono kkumi (10) bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo. 22Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka; bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema. 23N'akola embaawo ez'eweema; embaawo abiri (20) ez'oluuyi lw'obukiikaddyo, mu bukiikaddyo obwa ddyo; 24era n'akola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri. 25Era ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiikakkono, n'akola embaawo abiri (20), 26n'ebinnya byazo ebya ffeeza ana (40); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 27Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawo mukaaga. 28Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 29Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu; bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi. 30Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo. 31Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema, 32n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba. 33N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi. 34N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteeka emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu.
35N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; n'atungako bakerubi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola.#Kuv 26:31-37 36N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu; n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza. 37Oluggi olw'eweema n'alukolera akatimba aka kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza; 38n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo; n'emitwe gyazo, n'emiziziko gyazo, n'abibikkako zaabu; n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo.

Currently Selected:

Okuva 36: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in