YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 34

34
1Mukama n'agamba Musa nti, “Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya.#Kuv 32:19, Ma 10:1,2 2Era enkya weeteeketeeke olinnye ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko yaalwo. 3So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.” 4N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya ku makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja. 5Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA.#Kuv 33:19, Kubal 11:25 6Mukama n'ayita mu maaso ge, n'ayatula nti, “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;#Nek 9:17, Zab 86:15, Yo 2:13, Bar 2:4 7ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi, era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.”#Kuv 20:5,6, Yos 24:19, Yob 10:14, Yer 32:18, Nak 1:3, 1 Yok 1:9 8Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe, n'asinza. 9N'ayogera nti, “Bwe mba kaakano nga N'alaba ekisa mu maaso go, ayi Mukama, Mukama atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.”#Zab 33:12; 94:14 10N'ayogera nti, “Laba, ndagaana endagaano; mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna; n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukozesa kya ntiisa.#Ma 4:32-35; 10:21, Zab 77:14; 145:6, Is 64:3 11Lowooza kino kye nkulagira leero. Laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi.#Kuv 33:2, Ma 7:1; 19:8, Zab 78:55; 80:8, Nge 16:7 12Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe;#Kuv 23:32,33 13naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe;#Ma 7:5, 1 Bassek 18:4 14kubanga toosinzenga katonda mulala yenna, kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya;#Kuv 20:3,5, Kuv 23:19, Nge 3:9 15tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne bawa bakatonda baabwe ssaddaaka, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;#Kubal 25:1,2, 1 Kol 8:4,7,10; 10:27 16Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza bakatonda baabwe.”#Ma 7:3,4, 1 Bassek 11:2
17“Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse.#Leev 19:4 18Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu; kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri. 19Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga.#Kuv 13:2, Luk 2:23 20N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga; era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga ensingo yaayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.#Kuv 13:13; 23:15, Ma 16:16
21“Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga; mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.#Kuv 20:9, Ma 5:13 22Era mukuumanga embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga embaga ey'ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula.#Kuv 23:16 23Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri.#Kuv 23:17 24Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo; so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.#Ma 7:1; 19:8, Zab 78:55; 80:8, Nge 16:7
25“Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukusiddwa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.#Kuv 12:10; 23:18 26Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.”#Kuv 23:19, Nge 3:9
27Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe wandiika ebigambo ebyo; kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.”#Kuv 34:10 28N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi (10).#Kuv 34:1, Ma 10:2,4
29Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo ze; Musa n'atamanya ng'obwenyi bwe bumasamasa olw'okwogera ne Katonda.#Mat 17:2, 2 Kol 3:7 30Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, obwenyi bwe nga bumasamasa; ne batya okumusemberera. 31Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali; Musa n'ayogera nabo. 32Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera; n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.#Kuv 24:3 33Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge.#2 Kol 3:13 34Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri nga bwe yalagirwanga; 35abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, obwenyi bwe nga bumasamasa; Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.

Currently Selected:

Okuva 34: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in