YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 33

33
1Mukama n'agamba Musa nti, “Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo;’#Lub 35:12 2era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi;#Kuv 23:23,28 3mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu, nneme okukuzikiririza mu kkubo.”#Kubal 16:21,45 4Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala; ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo.#2 Sam 19:24 5Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza; kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.’ ” 6Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.#Kuv 25:22; 29:42,43 8Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema. 9Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema, Mukama n'ayogera ne Musa.#Kuv 13:21, Zab 99:7 10Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema, abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye. 11Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate; naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.#Kubal 12:8, Ma 34:10
12Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, ondagira nti, ‘Twala abantu bano;’ n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti, ‘Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.’ 13Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nnalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.”#Ma 9:26, Zab 27:11 14N'ayogera nti, “Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.”#Kuv 40:34-38, Yos 21:44, Is 63:9 15N'amugamba nti, “Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano. 16Bw'otoligenda naffe abantu balimanyira ku ki nti nze n'abantu bo twalaba ekisa mu maaso go? Bw'onoogenda naffe ekyo kye kiritwawula, nze n'abantu bo ku bantu abalala bonna abali ku nsi.”#Kuv 19:5,6, Kubal 14:14, 1 Bassek 8:53
17Mukama n'agamba Musa nti, “Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola; kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.” 18N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.”#1 Tim 6:16 19Mukama n'addamu nti, “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.”#Bar 9:15 20N'ayogera nti, “Toyinza kundaba maaso; kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.”#Kuv 24:10, Balam 13:22, Is 6:5, Kub 1:16 21Mukama n'ayogera nti, “Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja; 22awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaabanga kiyita, nnaakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo; 23ne nzigyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange; naye amaaso gange tegaalabike.”

Currently Selected:

Okuva 33: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in