YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 32

32
Endagaano emenyebwa, okwegayirira n'okuza obuggya endagaano (32:1—34:35)
1Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti, “Golokoka, otukolere katonda anaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.”#Kubal 24:18, Bik 7:40 2Alooni n'abagamba nti, “ Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.”#Balam 8:24-26 3Abantu bonna ne baggyako empeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni. 4N'azitoola mu ngalo zaabwe, n'aziwumba n'ekyuma ekisala, n'azisanuusa, n'azikolamu ennyana; ne boogera nti, “Ono ye katonda wo, ggwe Isiraeri, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”#Kuv 20:23, Balam 17:3,4, 1 Bassek 12:28, Zab 106:19, Bik 7:41 5Alooni bwe yalaba bw'atyo, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti, “Enkya wanaabeera embaga ya Mukama.”#2 Bassek 10:20 6Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka ne bakola ebitasaana.#1 Kol 10:7
7Mukama n'agamba Musa nti, “Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza;#Ma 9:12 8bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”#Kuv 20:3,4,23, Ma 9:16, 1 Bassek 12:28 9Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye nga ba nsingo nkakanyavu;#Kuv 33:3,5; 34:9, Ma 9:6,13; 10:16, 2 Byom 30:8, Bik 7:51 10kale kaakano ndeka, obusungu bwange bubuubuukire ku bo, era mbazikirize; era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.”#Ma 9:14, Kubal 14:12 11Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti, “Mukama kiki ekibuubuusizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi, n'omukono ogw'obuyinza?#Ma 9:26, Zab 106:23 12Lwaki owa Abamisiri omwaganya okwogera nti, Yabajja mu Misiri ng'agenderedde okubattira ku nsozi abasaanyizeewo ddala? Leka obusungu bwo obukambwe, okyuse oleme okubonereza abantu bo.#Ma 9:28 13Jjukira Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayirira wekka n'obagamba nti, ‘Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.’ ”#Lub 12:7; 22:16; 26:4, Ma 9:27, Beb 6:13 14Mukama n'akyusa naatabonereza bantu be.#2 Sam 24:16, Yer 18:8, Kos 11:8, Yo 2:13, Yon 3:10
15Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.#Kuv 31:18, Ma 9:15 16N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande. 17Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu n'agamba Musa nti, “Mpulira abantu mu lusiisira nga baleekaana ng'abalwana.” 18N'ayogera nti, “Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa; naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.” 19Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina; obusungu bwa Musa ne bubuubuuka nnyo, n'akasuka ebipande ebyalimu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi. 20N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri. 21Musa n'agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene?”#Lub 20:9 22Alooni n'ayogera nti, “Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo; gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.#Kuv 15:24; 16:2,20 23Kubanga baŋŋamba nti, ‘Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.’ 24Ne mbagamba nti, ‘Buli alina zaabu yonna yonna, agyeggyeko;’ awo ne bagimpa, ne ngiteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.” 25Musa nnalaba abantu nga bajagaladde; kubanga Alooni yabaleka okujagalala, kye kyabatuusa ku kusekererwa abalabe baabwe;#2 Byom 28:19 26Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti, “Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi.” Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali. 27N'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Buli muntu akwate ekitala kye, ayiteeyite mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, atte mugandawe, muntu munne, ne muliraanwa we.’ ”#Kubal 25:11, Ma 13:6-9; 33:9, Zek 13:3
28Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ku lunaku olwo abantu ne bafa ng'enkumi ssatu (3,000). 29Musa n'ayogera nti, “Mwetukuzza eri Mukama, kuba buli omu ku mmwe akkirizza okutta omwana we ne mugandawe, Mukama alyoke akuwe omukisa leero.” 30Awo bwe bwakya enkya, Musa n'agamba abantu nti, “Mwayonoonye ekyonoono ekinene; ne kaakano nnaalinnya eri Mukama; mpozzi n'akola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.” 31Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti, “Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera katonda owa zaabu. 32Naye kaakano, sonyiwa ekyonoono kyabwe, naye bw'otoobasonyiwe nkwegayiridde sangula nze mu kitabo kyo kye wawandiika.”#Kubal 14:19, Zab 69:28, Luk 10:20, Bar 9:3, Baf 4:3, Kub 3:5 33Mukama n'agamba Musa nti, “Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange.#Ez 18:4,20 34Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako; laba, malayika wange anaakukulemberanga; era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.”#Kuv 14:19, Kubal 20:16 35Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga bawaliriza Alooni okukola ennyana eya zaabu.

Currently Selected:

Okuva 32: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in