Okuva 30
30
1“Era olikola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane; olikikola n'omuti ogwa sita.#Kub 8:3 2Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri; amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo. 3Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola. 4Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako. 5Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu. 6Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe. 7Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa; buli nkya bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga.#Kuv 27:20-21, Luk 1:9,11 8Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta; so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa.#Leev 10:1 10Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka; n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna; kye kitukuvu ennyo eri Mukama.”#Kuv 29:36, Leev 16:18; 23:27
11Mukama n'agamba Musa nti, 12“Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga.#Kubal 1:2-4; 26:2 13Kino kye banaawanga: buli anaabalibwanga anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: sekeri emu yenkana ne gera abiri, ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama.#Kuv 38:24, Leev 5:15; 27:25, Kubal 3:47; 18:16, Ez 45:12, Mat 17:24 14Anaabalibwanga y'oyo awezezza emyaka abiri n'okusingawo, era anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama. 15Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe. 16Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.”#Kuv 38:25-28
17Mukama n'agamba Musa nti, 18“Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu; n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi. 19Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe;#Zab 26:6 20bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; 21banaanaabanga bwe batyo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna.”#Kuv 27:21
22Nate Mukama n'agamba Musa nti, 23“Era weetwalire ku byakaloosa ebisinga obulungi: muulo ekulukuta sekeri bitaano (500), ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano (250), kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano (250),#Zab 45:8, Lu 4:14, Ez 27:19 24ne kasiya sekeri bitaano (500), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni yini emu; 25era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu; galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako. 26Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa,#Kuv 40:9-11 27ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo ne ku kyoto eky'okwoterezangako, 28ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo. 29Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo; buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu.#Kuv 29:37 30Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona. 31Era oligamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Gano ganaabanga amafuta gange amatukuvu agatukuza mu mirembe gyammwe gyonna. 32Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa; ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli. 33Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga alizikirizibwa okuva mu bantu be.’ ”#Lub 17:14, Leev 7:20,21
34Mukama n'agamba Musa nti, “Weetwalire ebyakawoowo akalungi: sitakite, ne onuka, ne galabano; eby'akaloosa akalungi n'omugavu omulongoofu, byonna byenkane obuzito; 35era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu; 36era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe; kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli. 37N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa; kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama. 38Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.”
Currently Selected:
Okuva 30: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.