Okuva 12
12
Okuyitako
1Mukama n'agamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti, 2“Omwezi guno gulibabeerera ogwolubereberye mu myezi; gulibabeerera omwezi ogwolubereberye ogw'omwaka.#Kuv 13:4, Ma 16:1 3Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri nti, Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, balyetwalira mu buli nnyumba omwana gw'endiga gumu, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe ziri. 4Ennyumba bw'eneebeerangamu abantu abatono nga teemaleewo mwana gw'endiga omulamba, kale beegatte ku nnyumba ya mulirwaana waabwe, babalirwe ku muwendo gw'abantu abali mu nnyumba eyo, baliire wamu omwana gw'endiga. 5Omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, guliba musajja oguwezezza omwaka, nga teguliiko bulema,#Leev 22:19, Ma 17:1, Mal 1:8,14, 1 Peet 1:19 6muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno; olwo eya buli nnyumba eryoke ettibwe olw'eggulo ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kikuŋŋaanye.#Leev 23:5, Kubal 9:3; 28:16, Yos 5:10 7Era balitwala ku musaayi, bagusiige ku myango gy'enzigi ne waggulu, mu nnyumba mwe baliguliira.”
8“Awo balirya ennyama mu kiro ekyo, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa.#Kubal 9:11, Ma 16:3 9Temugiryangako nga mbisi newakubadde enfumbe n'amazzi, wabula enjokye n'omuliro; n'omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. 10Temugirekangawo okutuusa enkya; naye bwe walibaawo esigaddewo muligyokya n'omuliro.#Kuv 34:25, Ma 16:4 11Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde engatto, nga mukutte n'emiggo mu mikono gyammwe, mugiryanga mangu; kubanga okwo kwe kuliba okuyitako kwa Mukama.#Kuv 12:27 12Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro ekyo, nditta ebibereberye byonna mu nsi ey'e Misiri, abantu era n'ensolo; era ndisalira bakatonda bonna ab'e Misiri emisango, Nze Mukama.#Kuv 6:2; 11:4,5, Kubal 33:4, Is 42:8 13Omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu; nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe mu mmwe olulibazikiriza bwe ndiyita mu nsi ey'e Misiri.#Beb 11:28 14Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalukuumanga ng'embaga ya Mukama ey'etteeka eritaggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.”#Kuv 13:10, 2 Bassek 23:21
Embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa
15“Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olwolubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga buli alya emigaati egizimbulukusiddwa okuva ku lunaku olwolubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, anaaboolebwanga mu Isiraeri.#Kuv 13:3,6,7; 23:15; 34:18, Leev 23:6, Kubal 28:17, Ma 16:3,8, 1 Kol 5:7,8 16Ku lunaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omusanvu mulibeera n'okukuŋŋaana okutukuvu. Temukolanga mirimu gyonna mu nnaku ezo, wabula egyo gyokka egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.”#Leev 23:7,8, Kubal 28:18,25
17“Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa; kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe nnaggyira ekibiina kya Isiraeri kyonna okuva mu nsi ey'e Misiri; kye munaavanga mwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna ng'etteeka eritaggwaawo.#Kuv 13:3 18Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, mu mwezi ogwolubereberye olweggulo, mulirya emigaati egitazibulukusiddwa okutuusiza ddala ku lunaku olw'abiri mu olumu olweggulo.#Leev 23:5,6, Kubal 28:16,17 19Mu nnaku ezo omusanvu ekizimbulukusa tekibeeranga mu nnyumba zammwe; kubanga buli muntu alirya ekizimbulukusiddwa, oba nzaalwa oba munnaggwanga, aliboolebwa mu kibiina kya Isiraeri.#Kuv 12:15,48,49 20Temulyanga ekizimbulukusiddwa kyonna mu nnyumba zammwe zonna; wabula emigaati egitazimbulukusiddwa.”
Okuyitako okwasooka
21Musa n'alyoka ayita abakulembeze bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti, “Buli muntu alonde omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mugutte olw'okukwata okuyitako.#Kuv 12:3 22Nammwe mulitwala akasaaganda ka ezobu ne mukannyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mugusiiga ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu; omuntu yenna tafulumanga mu nnyumba ye okutuusa enkya.#Kuv 12:7, Kubal 19:18, Beb 9:19 23Kubanga Mukama aliyita okutta Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu, Mukama aliyita ku nnyumba eyo so talikkiriza muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubatta.#Kuv 12:12,13, Ez 9:6, Beb 11:28, Kub 7:3; 9:4 24Mulyekuuma etteeka lino, n'abaana bammwe abaliddawo ennaku zonna. 25Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, munaakwatanga embaga eno. 26Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘embaga eno etegeeza ki?’#Kuv 13:8,14, Ma 6:20, Zab 78:6 27Mulibaddamu nti, ‘Eno ye ssaddaaka etujjukiza okuyitako kwa Mukama, bwe yayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'atta Abamisiri, ffe n'atuwonya. Abantu ne bavunama ne basinza.’ ”#Kuv 4:31; 12:11
28Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni.
Okutta Ababereberye
29Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'atta abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo ow'okutuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.#Kuv 11:4,5, Kubal 33:4, Zab 78:51; 105:36 30Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.#Kuv 11:6 31Falaawo n'ayita Musa ne Alooni ekiro ekyo, n'abagamba nti, “Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.#Kuv 10:9-11,24 32Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; nange munsabire omukisa.” 33Abamisiri ne bakubiriza Abaisiraeri banguwe okuva mu nsi; kubanga baayogera nti, “Ffenna tujja kufa, singa temugenda.”#Kuv 11:1,8, Zab 105:38 34Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. 35Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Musa bwe yabalagira; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye;#Kuv 3:22; 11:2, Lub 15:14 36Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa byonna bye baabasaba. Ne banyaga Abamisiri.#Kuv 3:21; 11:3, Zab 105:37
Abaana ba Isiraeri bava e Misiri
37Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Lameseesi okutuuka e Sukkosi. Baali abasajja obusiriivu mukaaga (600,000), abaatambula n'ebigere nga tobaze bakazi na baana.#Lub 47:11, Kuv 38:26, Kubal 33:3,5 38Era n'ekibiina kinene ekya bannamawanga ne kigenda nabo, n'endiga, n'ente, n'ebisibo bingi nnyo.#Leev 24:10, Kubal 11:4 39Ne bafumba emigaati egitaliimu kizimbulukusa n'obutta bwe baggya e Misiri, kubanga tebaalina budde kussaamu kizimbulukusa, kubanga bagobebwa mangu okuva mu Misiri, era baali tebannaba kwefumbira mmere yonna.#Kuv 6:1; 11:1 40N'emyaka abaana ba Isiraeri gye baamala mu Misiri gyali bina mu asatu (430).#Lub 15:13, Bik 7:6, Bag 3:17 41Awo olwatuuka emyaka ebina mu asatu (430) bwe gyaggwako, ku lunaku olwo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne kiryoka kiva e Misiri. 42Ekiro ekyo Mukama kye yaggyiramu abaana ba Isiraeri mu Misiri, munaakikwatanga mu mirembe gyammwe gyonna.
Amateeka g'embaga ey'Okuyitako
43Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna tagiryangako; 44naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okukomolebwa, n'alyoka agiryako.#Lub 17:12,13 45Munnaggwanga n'omuweereza aweebwa empeera tebagiryangako#Leev 22:10 46Eneeriirwanga mu nnyumba mw'ettiddwa. Temufulumyanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo, era temumenyanga ggumba lyayo.#Kubal 9:12, Yok 19:33,36 47Ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaakwatanga embaga ey'okuyitako. 48Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okukwata embaga ey'okuyitako, bw'anaabanga omusajja anaamalanga kukomolebwa alyoke akwate embaga eyo; olwo anaabanga ng'enzaalwa; naye atali mukomole yenna tagiryangako.#Kuv 12:19, Kubal 9:14 49Linaabanga etteeka limu eri enzaalwa n'omugenyi asula omumwe.”#Leev 24:22, Kubal 15:15,16,29 50Bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni. 51Awo ku lunaku olwo Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri ng'ebika byabwe bwe byali.#Bik 13:17
Currently Selected:
Okuva 12: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.