Eseza 7
7
Kamani awanikibwa ku kitindiro
1Awo kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ewa Eseza kaddulubaale. 2Awo kabaka n'agamba Eseza nate ku lunaku olwokubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Kiki ky'osaba, Nnaabagereka Eseza, era onookiweebwa, era kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.”#Es 5:3,6; 9:12 3Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti, “Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ayi kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange, olw'okusaba kwange, era n'obw'abantu bange olw'okwegayirira kwange. 4Nze n'abantu bange tutundiddwa, okuzikirizibwa, okuttibwa n'okumalibwawo ddala. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nnandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.”#Es 3:9,13 5Awo kabaka Akaswero n'alyoka abuuza Eseza kaddulubaale nti, “Ani, era ali ludda wa ayaŋŋaanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?” 6Awo Eseza n'ayogera nti, “Omulabe era atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Awo Kamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale. 7Awo kabaka n'asituka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri; Kamani n'asigalawo okwegayiririra obulamu bwe eri Eseza Nnaabagereka; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza. 8Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti, “N'okukwata ayagala kukwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba?” Ekigambo bwe kyava mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani. 9Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti, “Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), Kamani ky'akoledde Moluddekaayi, eyayogera ebigambo ebyawonya kabaka kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani.” Kabaka n'ayogera nti, “Mumuwanike okwo.”#Es 1:10; 2:22; 5:14 10Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali akoledde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.#Zab 7:16, Nge 11:5-6; 26:27, Dan 6:24, Mat 7:2
Currently Selected:
Eseza 7: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.