YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 5

5
Okutya Katonda omutukuvu era omutuukirivu (5:1-7)
1Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru; kubanga tebamanyi nga bakola bubi.#Kuv 3:5, 1 Sam 15:22, Nge 15:8 2Akamwa ko tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.#Mat 6:7 3Kubanga ekirooto kijjira wamu n'olufulube lw'emirimu emingi; n'eddoboozi ly'omusirusiru lijjira wamu n'olufulube lw'ebigambo. 4Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.#Kubal 30:2, Ma 23:21, Zab 50:14; 66:13,14 5Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula.#Nge 20:25, Bik 5:4 6Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogereranga mu maaso ga mubaka nti kwali kusobya; Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo?#Kubal 15:25,26 7Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi, naye ggwe otyanga Katonda.#Mub 12:13
Obulamu wansi w'enjuba (5:8—7:24)
8Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga kigambo ekyo; kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu.#Zab 12:5, Mub 3:16 9Nate ekyengera eky'ettaka kiba kya bonna, kabaka yennyini ennimiro emuweereza.
Okwagala ffeeza
10Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba g'abwo taabikutenga: era n'ekyo butaliimu. 11Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera; kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge? 12Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, ne bw'aba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka.
Obutaliimu obuva ku bugagga
13Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ate ne yeerumya yekka, 14obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, n'aba nga takyalina kintu mu mukono gwe. 15Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.#Yob 1:21, 1 Tim 6:7 16Era n'ekyo kibi kinene, era nga bwe yajja bw'atyo bw'aligenda, era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira empewo?#Nge 11:29, Mub 1:3 17Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era nga yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu.
Okusanyukira by'okola
18Laba, ekyo kye nnalaba era nga kye kirungi ekisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi ebiva mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa; kubanga ogwo gwe mugabo gwe.#Mub 2:10,24 19Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde n'obuyinza okubiryangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.#Mub 3:13; 6:2 20Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez'obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw'okusanyuka kw'omutima gwe.

Currently Selected:

Omubuulizi 5: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in