Omubuulizi 4
4
Obubi obuli wansi w'enjuba
1Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba; era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, era nga abajoogebwa tebalina abasanyusa.#Mub 3:16, Kung 1:2 2Kye nnava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba;#Yob 3:17 3weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba.#Yob 3:16, Mub 6:3
4Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. 5Omusirusiru afunya emikono gye, era n'alya omubiri gwe ye.#Nge 6:10 6Olubatu olumu wamu n'okutereera lusinga embatu ebbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo.#Nge 15:16
Okuba n'emikwano
7Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba. 8Wabaawo omuntu ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda, naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. “Kale nteganira ani,” bw'ayogera, “ne nnyima emmeeme yange ebirungi?” Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kwe kweraliikirira okungi.#Nge 27:20, Mub 1:8; 2:18 9Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe. 10Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne; naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa. 11Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma; naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka? 12Era newakubadde omuntu asobola okusinga oyo ali yekka, naye ababiri be bamusobola. Omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.
Okuba omugezi
13Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyagala kubuulirirwa.#Mub 9:15,16; 12:12 14Newakubadde nga yava mu kkomera okuba kabaka; weewaawo, oba mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.#Lub 41:14,41-43 15Nnalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye. 16Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira. Abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Currently Selected:
Omubuulizi 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: