Ekyamateeka Olwokubiri 2
2
Emyaka gye baamala mu ddungu
1“Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu nga tukutte ekkubo eriraga ku nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba; ne tumala ennaku nnyingi nga twetooloorera mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.”#Kubal 14:25
2“Mukama n'ayogera nange nti, 3‘Muludde nnyo ku lusozi luno; mukyuke mugende e bukiikakkono.’ 4Naawe lagira abantu ng'oyogera nti, ‘Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya; naye mwegendereze nnyo.#Lub 36:8, Ma 23:7, Ob 10,12 5Temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa kafo konna ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka bwe.#Yos 24:4 6Munaawangayo nsimbi okugula emmere gye mulya n'amazzi ge munywa. 7“Mu myaka gino ana (40) Mukama Katonda wo abadde wamu naawe, akuwadde omukisa mu mirimu gyo gyonna ne mu kutambula kwo kwonna mu ddungu lino eddene, so tewabangawo kye weetaaga.”#Ma 8:2-4
8“Awo ne tutambula nga twebalama baganda baffe, abaana ba Esawu abatuula ku lusozi Seyiri, nga twebalama ekkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Eziyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu ly'e Mowaabu.#Balam 11:18, 1 Bassek 9:26 9Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tososonkereza Mowaabu so tobawakulako lutalo; kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa abaana ba Lutti, Ali okuba obutaka bwabwe. ’ ”#Lub 19:36,37 10( Edda Abemi be baatuulanga omwo, nga ggwanga kkulu, ddene era nga bawagguufu nga Abanaki bwe baali;#Lub 14:5, Ma 9:2 11era nabo nga bayitibwa Balefa, ng'Abanaki; naye Abamowaabu bo baabayitanga Bemi. 12Edda Abakooli be babeeranga ku Seyiri, naye abaana ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abaisiraieri bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe).#Lub 14:6; 36:20
13“Kale musituke musomoke akagga Zeredi. Awo ne tusomoka akagga Zeredi. 14Okuva lwe twava e Kadesubanea, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka asatu mu munaana (38). Abasajja abalwanyi bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.#Kubal 14:33,35; 32:11, Ma 1:34,35 15Mukama yabalwanyisa okutuusa lwe yabazikiriza n'abamalirawo ddala mu lusiisira.”
16“Awo olwatuuka, abalwanyi bonna bwe baamala okufa ne baggwaawo, 17Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, 18‘Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu; 19bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasosonkereza so tobawakulako lutalo kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe, kubanga nnamala dda okugiwa abaana ba Lutti okuba obutaka bwabwe.’ ”#Lub 19:36,38
20(Ensi eyo era eyitibwa ya Balefa. Abaleefa be baagibeerangamu edda. Naye Abammoni baabayitanga Bazamuzumu. 21Baali ggwanga kkulu, ddene, era nga bawagguufu ng'Abanaki bwe baali, naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe. 22Mukama era bw'atyo bwe yakolera abaana ba Esawu ababeera ku Seyiri; bwe yazikiriza Abakooli, olwo abaana ba Esawu ne batuula mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa leero). 23Era n'Abavi abaabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza, Abakafutooli abaava e Kafutooli baabazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe.#Yos 13:3,4, Am 9:7
24“Musituke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni, Sikoni, Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, muwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumulwanyise mutwale ensi ye.#Kubal 21:13,14 25Okuva leero ntadde entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna. Banaawuliranga ettutumu lyo ne batekemuka era ne beeraliikirira.”#Kuv 15:14-16, Ma 11:25, Yos 2:9,11
Isiraeri awangula kabaka Sikoni
(Kubal 21:1-30)
26“Ne ntuma ababaka nga nsiiziira mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni, kabaka w'e Kesuboni, n'ebigambo eby'emirembe nga musaba nti,#Kubal 21:21 27‘Ka mpite mu nsi yo; nnaatambuliranga mu luguudo mwokka, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.#Kubal 21:22 28Emmere gye tunaalyanga n'amazzi ge tunanywanga tunaagulanga bigule na nsimbi; naye tukkirize tuyitemu; 29ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe banzikiriza; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani ne ŋŋenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.’ ”#Kubal 20:18,21, Ma 23:3,4, Balam 11:17
30“Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita mu nsi ye; kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omutima gwe, n'ajeema alyoke amuweeyo mu mukono gwo nga bwe kiri leero.#Kuv 4:21, Kubal 21:23, Yos 11:19,20 31Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okubawa Sikoni n'ensi ye; kale mugiwangule mugituulemu.’ 32Sikoni n'abantu be bonna ne basitula okutulumba okutulwanyisiza e Yakazi. 33Mukama Katonda waffe n'amutuwa mu mukono gwaffe ne tumutta, ye n'abaana be n'abantu be bonna. 34Ne tunyaga ebibuga bye byonna, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; obutalekaawo n'omu; 35ente zokka ze twetwalira ng'omunyago, wamu n'ebintu bye twanyaga mu bibuga ebyo. 36Mukama Katonda waffe yatuwa byonna mu mukono gwaffe, okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi. Tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bwakyo.#Yos 13:9,10; 12:2 37Naye tetwasemberera nsi y'abaana ba Amoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna, Mukama Katonda waffe gye yatuziyiza okugenda.”#Kubal 21:24
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.