YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 11

11
Obukulu bwa Mukama
1Kale munaayagalanga Mukama Katonda wammwe, ne mwekuuma bye yabakuutira, amateeka ge n'ebiragiro bye ennaku zonna.#Ma 6:5 2Kale mumanye leero; soogera na baana bammwe abaatamanya era abataalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, wabula nammwe abalaba obukulu bwe n'amaanyi ge, n'omukono gwe ogwagololwa;#Ma 3:24; 8:5 3n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri, n'eri Falaawo, kabaka w'e Misiri n'ensi ye yonna;#Ma 6:22 4era bye yakola eggye ery'e Misiri, bwe yasaanyawo embalaasi n'amagaali gaabwe; mu mazzi ag'ennyanya emmyufu, n'abazikiriza bonna bwe baali nga babawondera.#Kuv 14:27,28 5Mumanyi byonna Mukama bye yabakolera mu ddungu, bwe mwali nga temunnatuuka mu kifo kino;#Zab 78:14,15,24,27 6mujjukira byeyakola Dasani ne Abiramu abaana ba Eriyaabu, bazzukulu ba Lewubeeni; ettaka bwe lyayatika ne lyasama, ne libamira bugobo; ab'omu maka gaabwe bonna, n'eweema zaabwe na buli kintu kyonna ekiramu kye baalina nga Abaisiraeri abalala bonna balaba.#Kubal 16:1,31,32, Zab 106:17 7Era mwalabira ddala n'amaaso gammwe omulimu gwonna omukulu Mukama gwe yakola.
Emikisa mu nsi ensuubize
8Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga guno Yoludaani muyingire mutwale ensi Mukama gy'abawa;#Yos 1:6,7 9era mulyoke muwangaale mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.#Kuv 3:8, Ma 4:40 10Kubanga ensi gye muyingiramu okutwala, tefaanana ng'ensi ey'e Misiri gye mwava, gye mwasigiranga ensigo ne mukola n'amaanyi, nga muzifukirira ng'ennimiro y'enva. 11Naye ensi gye muyingiramu okutwala nga mumaze okusomoka Yoludaani, nsi ya biwonvu n'ensozi efukirirwa enkuba.#Ma 8:7 12Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala; era amaaso ge gaba ku yo ennaku zonna, okuva ku ntandikwa y'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.#1 Bassek 9:3, Yer 24:6
13Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna,#Ma 6:5 14anaatonnyesanga enkuba ku nsi yammwe mu ntuuko zaayo; enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, mukungulenga eŋŋaano, n'envinnyo n'amafuta okuva mu mizeyituuni. 15Era n'akuzanga omuddo mu ttale olw'ebisibo byammwe era nammwe munaalyanga ne mukkuta.#Leev 26:4, Zab 104:14, Yo 2:19,23 16Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okulimbibwa, ne mukyama, okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza;#Ma 6:14 17obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba netatonnya, n'ensi netabala bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.#Ma 4:26; 6:15, 1 Bassek 8:35, 2 Byom 7:13 18Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu bulamu bwammwe; era munaabisibanga ku mikono gyammwe era munaabyetimbanga mu byenyi byammwe okuba akabonero ak'okubibajjukizanga.#Ma 6:6-9 19Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumyako, bwe munaatuulanga mu nnyumba zammwe ne bwe munaabanga mutambula mu ŋŋendo zammwe, bwe munaabanga mugenda okwebaka, era ne bwe munaabanga mugolokose. 20Era munaabiwandiikanga ku myango gy'ennyumba zammwe ne ku nzigi zammwe. 21Ennaku zammwe n'ez'abaana bammwe zibeere nnyingi mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa emirembe gyonna.#Ma 4:40, Zab 89:29 22Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye; 23Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mutwala ensi z'amawanga ago agabasinga obunene n'amaanyi.#Ma 4:38; 9:1 24Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba.#Lub 15:18, Kuv 23:31, Ma 34:2, Yo 1:3 25Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.#Kuv 23:27, Ma 2:25; 7:4
26“Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa.#Ma 30:1,19 27Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero.#Ma 28:2-14 28Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi. 29Awo olulituuka Mukama Katonda wammwe bw'alibayingiza mu nsi gye mugenda okutuulamu, mulangiriranga omukisa nga musinziira ku lusozi Gerizimu, n'ekikolimo nga musinziira ku lusozi Ebali.#Ma 27:12,13, Yos 8:33 30Ensozi ezo zombi ziri mitala wa mugga Yoludaani, mu nsi y'Abakanani ababeera mu kiwonvu kya Yoludaani okwolekera Gilugaali, ku mabbali g'emivule gya Mole. 31Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira mutwale ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, okubeeramu. 32Era munaanyiikiranga okukwata amateeka n'ebiragiro byonna bye mbalagira mmwe leero.”

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in