YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 11:26-28

Ekyamateeka Olwokubiri 11:26-28 LBR

“Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa. Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero. Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi.