Danyeri 3
3
Ekifaananyi Ekya Zaabu
1Kabaka Nebukadduneeza yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwakyo emikono mukaaga, n'akiyimiriza mu lusenyi lw'e Dduula, mu ssaza lye Babbulooni. 2Awo kabaka Nebukadduneeza n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, abalamuzi, abawanika, abawi ba magezi, bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, bajje babeerewo nga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza kiwongebwa. 3Awo abaamasaza, n'abamyuka baabwe, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi ba magezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza ne bayimirira mu maaso gaakyo. 4Awo omulangirizi n'ayogerera waggulu nti, “Mmwe abantu mwenna, amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, mulagirwa nti 5bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ery'e bivuga ebirala byonna ebya buli ngeri, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza. 6Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.”#Yer 29:22, Kub 13:15 7Awo abantu bonna, n'abamawanga bonna, n'ab'ennimi zonna, bwe baawulira eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ery'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza. 8Awo mu kiseera ekyo, Abakaludaaya abamu ne bajja, ne baloopa Abayudaaya. 9Ne bagamba kabaka Nebukadduneeza nti, “Ai kabaka, obeerenga omulamu emirembe gyonna.#Dan 2:4 10Ggwe, wateeka etteeka, Ayi kabaka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu; 11era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza anaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 12Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu kufuga essaza lye Babbulooni: Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Abasajja abo, Ayi kabaka, bakunyooma, tebaweereza bakatonda bo, era tebavuunama kusinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.”#Dan 1:7; 6:13 13Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka. 14Nebukadduneeza n'ababuuza nti, “Mmwe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, ddala kituufu, mugaanyi okuweereza katonda wange, n'okuvuunama okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nnayimiriza? 15Kale nno kaakano, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nnakola, kinaaba kirungi, naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?”#Kuv 5:2, 2 Bassek 18:35, Dan 6:20 16Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo. 17Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, Ayi kabaka.#2 Kol 1:10 18Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, Ayi kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.”#Bik 5:29 19Awo Nebukadduneeza n'alyoka yeejuumuulira ddala, najjula obusungu, n'atunuulira Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego n'obukambwe, n'alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga bwe kyali kyase. 20N'alagira abamu ku basajja ab'amaanyi abo mu ggye lye, okusiba Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, n'okubasuula mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 21Awo abasajja abo ne basibibwa nga bambadde engoye zaabwe: ekkanzu zaabwe, n'eminagiro gyabwe, ne byo ku mitwe gyabwe, ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. 22Awo kubanga kabaka yali alagidde okukumira ddala ekikoomi kyake nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula mu kikoomi Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. 23N'abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro, nga basibiddwa.#1 Peet 4:12 24Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa okusituka, n'abuuza abakungu be nti, “Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro?” Ne baddamu kabaka nti, “Mazima, bwe kiri, Ayi kabaka.” 25N'abagamba nti, “Nze nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi! n'owookuna aliŋŋaanga omwana wa bakatonda.”#Yob 1:6, Is 43:2, Dan 6:23 26Awo Nebukadduneeza n'alyoka asembera kumpi n'omulyango gw'ekikoomi ekyaka n'omuliro, n'akoowoola nti, “Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mmwe abaweereza ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume, mujje wano.” Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro.#Dan 4:2; 5:18,21 27Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako.#Beb 11:34 28Nebukadduneeza n'agamba nti, “Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaakanya ekigambo kyange nze kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe mu kabi, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, okuggyako Katonda waabwe bo.#Kuv 20:3, Zab 25:2; 34:7, Dan 6:22 29Kale kaakano, kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, balitemebwatemebwa n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo”#Dan 2:5 30Kabaka n'alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu ssaza lye Babbulooni.
Currently Selected:
Danyeri 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.