YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino ky'eky'okubiri, Lukka kye yawandiika ng'amaze okuwandiika eky'Enjiri ekiyitibwa Lukka. Ekitabo kino era akyanjulira mukwano gwe, Teefiro (1:1-3). Amutegeeza byonna ebyabaawo nga Yesu amaze okuzuukira era nga n'omulimu gwe bwe gweyongera mu maaso ng'amaze okugenda mu ggulu. Alaga ng'ekkanisa bwe yeyongera okukula n'okugaziwa mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu. Alaga ng'ekkanisa bwe yasaasaana okuva mu Bayudaaya okutuuka mu b'Abamawanga, Katonda ng'akozesa okusooka Peetero ate ne Pawulo.
Ebiri mu kitabo
Ebigambo bya Yesu ebyasembayo nga tanatwalibwa mu ggulu (1:1—2:13).
Obujulirwa bwa batume mu Yerusaalemi (2:14—5:42).
Obujulirwa bwa batume okusuka Yerusaalemi (6:1—12:25).
Olugendo lwa Pawulo olwasooka olw'Enjiri (13:1—14:28).
Olukiiko lwe kkanisa e Yerusaalemi. (15:1-35).
Olugendo lwa Pawulo olwokubiri olw'enjiri (15:36—18:22).
Olugendo lwa Pawulo olwokusatu olw'Enjiri (18:23—21:16).
Pawulo asibirwa mu Kayisaaliya (21:17—23:35).
Pawulo awozesebwa e Kayisaaliya (24:1—26:32).
Olugendo lwa Pawulo okutwalibwa e Ruumi (27:1—28:31).

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in