Ebikolwa by'Abatume 9
9
Okukyuka kwa Sawulo
1 #
Bik 22:3-21; 26:9-20 Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby'okukanga n'eby'okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n'agenda eri kabona asinga obukulu,#Bik 8:3 2n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'Ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi.#9:2 Abayigirizwa ba Mukama waffe era bali bayitibwa abantu ab'Ekkubo. Yesu ly'Ekkubo n'olw'ekyo nga abamukkiriza baba ba Kkubo eryo. 3Awo bwe yali ng'atambula, ng'anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangwago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetooloola,#1 Kol 15:8 4n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti, “ Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?” 5N'agamba nti, “ Ani ggwe, Mukama wange?” Ye n'agamba nti, “ Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe:#Bik 5:39 6naye golokoka oyingire mu kibuga; onoobuulirwa ebikugwanidde okukola.” 7Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu. 8Sawulo n'agolokoka wansi, n'agezaako okutunula naye ng'amaaso ge nga tegalaba, ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko. 9N'amala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa.
Okubatizibwa kwa Sawulo
10Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti, “ Ananiya.” N'addamu nti, “nze nzuuno, Mukama wange.”#Bik 10:17; 16:9 11Mukama waffe n'amugamba nti, “ Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuulize mu nnyumba ya Yuda, omuntu erinnya lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, laba, asaba;#Bik 21:39 12era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule.” 13Naye Ananiya n'addamu nti, “ Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu bo abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: 14ne wano alina obuyinza obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonna abasaba mu linnya lyo.”#1 Kol 1:2, Bik 22:16, 2 Tim 2:22 15Naye Mukama waffe n'amugamba nti, “ Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri.#Bar 1:5, Bik 15:13; 27:24, 2 Kol 4:7 16Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwanidde okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lyange.”#Bik 23:29, 2 Kol 11:23-28 17Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti, “ Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo ng'ojja, ozibule ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.” 18Amangwago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa. 19N'alya emmere n'afuna amaanyi.
Sawulo abuulira Enjiri mu Ddamasiko
N'abeera n'abayigirizwa abaali mu Ddamasiko ennaku nnyingiko. 20Amangwago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo ye Mwana wa Katonda. 21Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti, “Si y'ono eyayigganyanga ennyo mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? Kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.”#Bik 8:1; 9:1,14; 26:10 22Naye Sawulo ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi n'akwasanga ensonyi Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng'ategeereza ddala nti oyo ye Kristo.#Bik 18:28
23Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta.#Bik 23:12-29 24Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'ekiro okumutta.#Bik 23:16 25Naye abayigirizwa be ne bamutwala kiro ku kisenge, ne bamussiririza mu kisero.#2 Kol 11:32,33
26Bwe yatuuka e Yerusaalemi n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa: ne bamutya bonna, nga tebannaba kukkiriza nga naye muyigirizwa.#Bag 1:17-19 27Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu.#Bik 9:20 28N'abeeranga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi, 29ng'abuuliranga n'obugumu mu linnya lya Mukama waffe: n'ayogera n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bagezaako okumutta. 30Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.#Bik 11:25, Bag 1:21
31Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera.
Peetero awonya Ayineya
32Awo olwatuuka Peetero bwe yali ng'ayita wonna wonna, n'aserengeta eri abatukuvu abaali batuula mu Luda: 33n'asangayo omusajja erinnya lye Ayineya eyali yaakamala ku kitanda emyaka munaana, olw'endwadde y'okukoozimba. 34Peetero n'amugamba nti, “ Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yimirira, weeyalire.” Amangwago n'ayimirira. 35Bonna abaali batuula mu Luda ne mu Saloni ne bamulaba ne bakyukira Mukama waffe.
Omuyigirizwa Doluka azuukizibwa
36Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa, mu Luyonaani ng'ayitibwa Doluka, omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n'ebintu bye yagabanga. 37Olwatuuka mu nnaku ezo n'alwala n'afa: bwe baamala okumunaaza ne bamuteeka mu kisenge ekya waggulu. 38Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti, “ Tolwa, jjangu gyetuli.” 39Peetero n'agolokoka n'agenda nabo. Bwe yatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu: ne bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibawo n'ebyambalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo. 40Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n'asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti, “ Tabbiisa, yimirira.” N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula.#Mak 5:40,41 41N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu,#Bik 9:32 42Ne kitegeerwa mu Yopa kyonna; bangi ne bakkiriza Mukama waffe. 43Awo olwatuuka n'alwayo ennaku nnyingi mu Yopa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba.#Bik 10:6
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 9: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: