YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 8

8
Ekkanisa eyigganyizibwa
1Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwa Suteefano.#Bik 7:58; 11:19; 22:20
Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, okuggyako abatume. 2Abantu abatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo.#Mat 14:12 3Naye Sawulo n'afuba okusaanyawo ekkanisa, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera.#Bik 9:1; 22:4
Firipo abuulira mu Samaliya
4Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo. 5Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo.#Bik 6:5 6Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby'amagero ge yakolanga. 7Kubanga bangi ku bo abaaliko badayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema.#Mak 16:17 8Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo.#Yok 4:40-42
Simooni omulogo ayagala okugula Omwoyo Omutukuvu
9Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti, ye mukulu; 10ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti, “ Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi.” 11Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n'okuloga kwe. 12Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi.#Mat 28:19 13Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.
14Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.#Bik 3:1 15Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu: 16kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 17Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu.#1 Tim 4:14 18Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza 19ng'agamba nti, “ Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu.” 20Naye Peetero n'amugamba nti, “ Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu. 21Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda.#Zab 78:37, Bef 5:5 22Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu mutima gwo. 23Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y'obubi.”#Ma 29:18, Is 58:6, Beb 12:15 24Simooni n'addamu n'agamba nti, “Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n'ekimu.”
25Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira Enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya.
Firipo akyusa Omwesiyopya
26Awo malayika wa Mukama n'agamba Firipo nti, “ Golokoka, ogende obukiikaddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza.” Ekkubo eryo lya ddungu. 27N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,#Is 56:3-7 28yali atudde mu ggaali ye ng'addayo ewaabwe, ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.
29Omwoyo n'agamba Firipo nti, “Sembera, weegatte n'eggaali eyo.” 30Firipo n'adduka n'atuuka ku ggaali, n'amuwulira Omuwesiyopya ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'agamba nti, “Otegeera by'osoma?” 31N'amuddamu nti, “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo andagirira?” Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.#Yok 16:13 32Ekyawandiikibwa kye yali asoma kyali kigamba nti, #Is 53:7,8
Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga,
Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika,
Bwe kityo teyayasamya kamwa ke:
33Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo:
Ekika kye ani alikinnyonnyola?
Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
34Omulaawe n'abuuza Firipo nti, “ Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Yeeyogerako yekka oba ayogera ku muntu mulala?” 35Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu. 36Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti, “ Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?”#Bik 10:47 [37Firipo n'agamba nti, Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti, Nzikkirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.] 38N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi, Firipo n'amubatiza. 39Bwe baava mu mazzi, Omwoyo wa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba nate, naye n'agenda ng'asanyuka.#1 Bassek 18:12 40Naye Firipo n'alabikira mu Azoto, n'agenda ng'abuulira Enjiri mu bibuga byonna okutuukira ddala e Kayisaliya.#Bik 21:8,9

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 8: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in