YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 23

23
Pawulo awoleza mu lukiiko
1Pawulo n'atunuulira ab'olukiiko enkaliriza, n'agamba nti, “ Ab'oluganda, nze ntambulidde mu maaso ga Katonda n'obwegendereza okutuusiza ddala ku lunaku luno.”#Bik 22:1; 24:16 2Ananiya, kabona asinga obukulu, n'alagira abo abamuyimiridde okumpi okumukuba oluyi ku ttama #Mat 23:27, Ez 13:10-15, Leev 19:15 3Pawulo n'alyoka amugamba nti, “Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?”#Mat 23:27, Ez 13:10-15, Leev 19:15 4Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti, “Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?” 5Pawulo n'agamba nti, “Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘ toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.’ ”#Kuv 22:28 6Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu ky'Abasaddukaayo n'eky'okubiri ky'Abafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti, “ Ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo, mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.”#Bik 4:2; 22:3; 26:5 7Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba wakati w'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu. 8Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde bamalayika, newakubadde omwoyo, naye Abafalisaayo ebyo byonna babikkirizza.#Mat 22:23 9Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti, “Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba omwoyo oba nga malayika yayogera naye?” #Bik 25:25; 5:39 10Bwe waabaawo okuyomba okungi, omukulu w'abasserikale n'atya ng'alaba Pawulo baagala kumuyuzayuzamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo n'amaanyi bamutwale mu nkambi.
11Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti, “Guma omwoyo: kubanga nga bw'onjulidde wano mu Yerusaalemi, era kikugwanidde n'okunjulira bw'otyo ne Ruumi.”#Bik 18:9; 19:21; 28:16,23
Olukwe lukolebwa okutta Pawulo
12Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti, tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo. 13Abeekobaana bwe batyo ne basukka ana (40). 14Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti, “ Twerayiridde obutakomba ku kantu konna wabula nga tumaze kutta Pawulo.#Yok 16:2,3 15Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omukulu w'abasserikale amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye, naffe, tunnamutta nga tanatuusibwa eyo.” 16Naye mutabani wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu nkambi, n'abuulira Pawulo. 17Pawulo n'ayita omu ku basserikale n'amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuserikale omukulu, kubanga alina ekigambo kyayagala okumubuulira.” 18Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omukulu w'abaserikale n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira. 19Omukulu w'abaserikale n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti, “Bigambo ki by'olina okumbuulira?” 20N'amugamba nti, “Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye. 21Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe nga ana (40) bamuteeze nga berayiridde obutalya newakubadde okunywa ekintu kyonna wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okukkiriza.” 22Awo omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti, “ Tobuulirako omuntu nti ombuulidde ebigambo bino.”
Pawulo atwalibwa e Kayisaliya
23Awo n'ayita babiri ku basserikale abaduumizi n'abagamba nti, Mutegeke abasserikale bibiri (200), n'abeebagala embalaasi nsanvu (70), n'ab'amafumu bibiri (200) bagende e Kayisaliya, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro; 24era mutegekewo n'embalaasi Pawulo gyanagenderako bamutwale mirembe okumutuusa eri Ferikisi owessaza. 25N'awandiika ebbaluwa ku nsonga eno nti:
26“Kulawudiyo Lusiya eri Ow'ekitiibwa owessaza Ferikisi, nkulamusizza.#Luk 1:3 27Omusajja ono yakwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne ŋŋenda n'abasserikale gye baali ne mbamuggyako, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.#Bik 21:33; 22:25 28Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.#Bik 22:30 29Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.#Bik 6:9; 18:14,15 30Bwe bambuulira nti waliwo olukwe olw'okumutta, kwe kusalawo amangwago okumuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okuleeta ensonga zaabwe gy'oli.”#Bik 24:8
31Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo mu kiro ne batuuka mu Antipatuli. 32Enkeera ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda ne Pawulo okutuuka e Kayisaliya, abalala ne baddayo mu nkambi. 33Abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo. 34Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya,#Bik 22:3 35n'agamba nti, “ Ndikuwuliriza abakuloopa bwe baliba bazze.” N'alagira okumukuumira mu lubiri lwa Kerode.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 23: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in