YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 10

10
Koluneeriyo atumya Peetero
1Waaliwo omusajja mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano,#Mat 8:5, Bik 27:1 2omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, era ng'asaba Katonda buli kiseera. 3Mu ssaawa ng'ey'omwenda ey'olunaku n'alabira ddala mu kwolesebwa malayika wa Katonda ng'ayingira gyali n'amuyita nti, “ Koluneeriyo.”#Bik 3:1 4Koluneeriyo n'amutunuulira enkaliriza ng'atidde nnyo. N'agamba nti, “Kiki, Mukama wange?” N'amuddamu nti, “ Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye ng'ekijjukizo mu maaso ga Katonda. 5Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero: 6oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'ennyumba ye eri ku lubalama lw'ennyanja.” #Bik 9:43 7Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga bulijjo; 8bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa.
9Awo ku lunaku olwokubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga. 10N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa; 11n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, n'essibwa wansi:#11:5-17 12ng'erimu ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n'ebyewalula eby'oku nsi n'ennyonyi ez'omu bbanga. 13N'awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Golokoka, Peetero, osale olye.” 14Naye Peetero n'addamu nti, “ Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”#Ez 4:14, Leev 11:1-47 15Eddoboozi nate ne lijja gy'ali omulundi ogwokubiri nti, “ Ekyo Katonda kyalongooseza tokiyita kitali kirongoofu.” #Mat 15:11, Mak 7:15,19 16Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangwago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu.
17Awo Peetero bwe yali ng'akyebuuza munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi, 18ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero, yakyazibwa omwo. 19Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti, “ Laba, abantu basatu bakunoonya.#Bik 13:2; 15:28 20Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.” 21Peetero n'akka wansi n'agenda eri abasajja n'agamba nti, “Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?” 22Ne bagamba nti, “Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.” 23Awo n'abayingiza n'abaaniriza.#Bik 11:12
Awo ku lunaku olwokubiri Peetero n'agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye.
Peetero mu maka ga Koluneeriyo
24Awo ku lunaku olwokubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo. 25Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira mu nnyumba, Koluneeriyo n'agwa wansi ku bigere bya Peetero, n'amusinza. 26Naye Peetero n'amuyimusa n'amugamba nti, “ Yimirira, nange ndi muntu buntu.”#Bik 14:15, Kub 19:10 27Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye, 28n'abagamba nti, “Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita omuntu yenna ow'omuzizo oba omubi. 29Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyenva mbuuza nti Kiki ekimpisizza?” 30Awo Koluneeriyo n'agamba nti, “Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n'ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimasamasa, 31n'agamba nti, ‘Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. 32Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n'ennyanja.’ 33Awo amangwago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.” 34Awo Peetero n'atandika okwogera n'agamba nti:#Ma 10:17, 1 Sam 16:7, Bar 2:11 “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: 35naye mu buli ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza.#Yok 9:31; 10:16 36Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo, ye Mukama w'ebintu byonna,#Zab 107:20; 147:18, Is 52:7, Nak 1:15, Mat 28:18 37mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana,#Mat 4:12-17 38Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.#Is 61:1, Mat 3:16 39Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti.#Ma 21:22 40Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olwokusatu n'amulaga mu lwatu,#1 Kol 15:4-7 41si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu.#Yok 14:19,22; 15:27, Bik 1:4 42N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango w'abalamu n'abafu.#Bik 17:31, Bar 14:9,10, 1 Peet 4:5, 2 Tim 4:1 43Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.”#Is 33:24; 53:5,6, Yer 31:34, Ez 34:16, Dan 9:24
Ab'amawanga bafuna Omwoyo Omutukuvu
44Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo. 45Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku b'amawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa. 46Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'abuuza nti,#Bik 2:4; 19:6, Mak 16:17 47“ Waliwo omuntu yenna ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n'amazzi, abafunye Omwoyo Omutukuvu nga ffe?” 48N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Ne bamusaba agira abeera nabo okumalayo ko ennaku. #Yok 4:40

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 10: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in