Bible App logo
Search Icon

2 Samwiri 4

4
Okuttibwa kwa Isubosesi
1Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira nga Abuneeri bamutidde e Kebbulooni naatya nnyo, n'Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.#Is 13:7, Yer 6:24 2Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri (2) abaami b'ebibiina; omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri ng'erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini; Beerosi kyali kitundu kya Benyamini.#Yos 18:25 3Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde e Gittayimu era gye babeera n'okutuusa kaakati.#1 Sam 31:7
4Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, ng'erinnya lye ye Mefibosesi. Omwana oyo yalina emyaka etaano (5) egy'obukulu Sawulo ne Yonasaani we baafiira. Omuntu bweyava e Yezuleeri n'abika Sawulo ne Yonasaani, omulenzi w'omwana oyo n'amusitula n'adduka. Naye olw'okubanga yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala.#1 Sam 29:11; 31:1,2, 2 Sam 9:3,6, 1 Byom 8:34
5Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi ku ssaawa nga mukaaga ez'omuttuntu, ne basanga nga Isubosesi awumuddeko. 6Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde ng'abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Lekabu ne muganda we Baana ne badduka. 7Baayingira mu nnyumba nga Isubosesi yeebase ku kitanda mu kisenge mwasula, ne bamufumita ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kkubo erya Alaba.#2 Sam 2:29 8Omutwe gwa Isubosesi ne baguleetera kabaka Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Guguuno omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyali ayagala okukutta.”#1 Sam 19:10,11; 23:15 9Dawudi n'abaddamu nti, “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!#Luus 3:13, 1 Bassek 1:29 10Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka n'amukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye n'amuwa olw'amawulire ge ago!#2 Sam 1:4,10,15 11Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Sisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Isubosesi, ne mbasanyaawo ku nsi kuno?”#Lub 9:5,6 12Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta Lakabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Ne batwala omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri e Kebbulooni.#2 Sam 3:32

Currently Selected:

2 Samwiri 4: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in