Bible App logo
Search Icon

2 Samwiri 2

2
Dawudi afuulibwa kabaka wa Yuda
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti, “Naayambuka wa?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka e Kebbulooni.”#Yos 14:13-15, 1 Sam 23:2 2Awo Dawudi n'ayambukayo ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri.#1 Sam 25:42,43 3Ne basajja be abaali naye n'agenda nabo, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye; ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.#1 Sam 27:2,3 4Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda.#1 Sam 16:13; 31:11-13, 2 Sam 5:3,5
Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo. 5Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti, “Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika!#Luus 2:20 6Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima! nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo ekirungi. 7Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira; kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.”
Isubosesi afuulibwa kabaka wa Isiraeri
8Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu;#Yos 13:26, 1 Sam 14:50, 1 Byom 8:33 9Eyo Abuneeri gye yafuulira Isubosesi kabaka wa Gireyaadi, owa Abasuuli, owa Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isiraeri yonna. 10Isubosesi mutabani wa Sawulo yali awezezza emyaka ana (40) bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri (2). Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi. 11N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali emyaka musanvu (7) n'emyezi mukaaga (6).#2 Sam 5:5
Olutalo wakati wa Isiraeri ne Yuda
12Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. 13Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ebibinja byombi ne baatula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala.#1 Byom 2:16, Yer 41:12 14Abuneeri n'agamba Yowaabu nti, “Abavubuka okuva ku buli ludda, bajje balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti, “Kale bajje.”#1 Sam 17:8,9 15Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri (12), aba Isubosesi mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamini, n'abavubuka kkumi na babiri (12) aba Dawudi (12). 16Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibyoni kyebaava bakiyita Kerukasu-kazzulimu.#2:16 Kerukasu-kazzulimu mu Lwebbulaniya kitegeeza ennimiro y'ebitala. 17Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abaisiraeri. 18Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri; era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale.#1 Sam 26:6, 2 Sam 23:24, 1 Byom 2:16; 12:8; 27:7, Lu 2:17, Kaab 3:19 19Asakeri n'awondera Abuneeri; nga takyama ku ddyo newakubadde ku kkono. 20Awo Abuneeri bweyatunula emabega n'abuuza nti, “Asakeri, ggwe wuuyo?” Asakeri n'addamu nti, “Nze nzuuno.” 21Awo Abuneeri n'amugamba nti, “Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire eby'okulwanyisa bye.” Naye Asakeri n'atakkiriza kulekerawo kumuwondera. 22Abuneeri n'addamu nate okugamba Asakeri nti, “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?”#2 Sam 3:27 23Naye Asakeri era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asakeri omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asakeri n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asakeeri mwe yafiira ng'ayimirira. 24Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri; awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi olw'e Amma, oluli mu maaso ga Giya ku kkubo erigenda mu ddungu lye Gibyoni. 25Awo abaana ba Benyamini ne begatta ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi. 26Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti, “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli baganda bammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”#2 Sam 11:25 27Yowaabu n'addamu nti, “Katonda nga bw'ali omulamu, singa towanjazze, basajja bange babadde bakukuwondera okutuusa enkya.” 28Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kuwondera Isiraeri. Awo olutalo ne lulyoka luggwa. 29Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula ekiro kyonna mu Alaba, ne basomoka Yoludaani ne bayita mu Bisulooni yonna ne batuuka e Makanayimu.#2 Sam 2:8 30Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda (19) nga tobaliddeemu Asakeri. 31Naye abasajja ba Dawudi baali basse ku ba Benyamini n'abasajja ba Abuneeri; abasajja bisatu mu nkaaga (360). 32Ne basitula omulambo gwa Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna ne bubakeererera e Kebbulooni.

Currently Selected:

2 Samwiri 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in