Bible App logo
Search Icon

2 Peetero 2

2
Abayigiriza ab'obulimba
1Naye era ne wabaawo ne bannabbi ab'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza ab'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okw'amangu. #Mat 24:11, 1 Tim 4:11, Mat 13:1, Yud 5 2Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; balivumisa ekkubo ery'amazima.#Is 52:5 3Era olw'omululu balibafunamu amagoba nga bakozesa ebigambo ebyagunjibwa, omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota.#Bar 16:18, 2 Kol 9:5, 1 Bas 2:5 4Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubategekera omusango;#Lub 6:1, Yud 6 5era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda.#2 Peet 3:6, Lub 8:18 6Yasirissa ebibuga Sodomu ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza n'okubifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda;#Lub 19:24, Yud 7 7era n'alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw'empisa ez'obukaba ez'ababi. 8Kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo bulijjo bulijjo yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu.#Ez 9:4 9Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango;#1 Kol 10:13, Kub 3:10, Yud 6 10naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebatya kuvuma ba kitiibwa,#Yud 7,8,16 11naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.#Yud 9 12Naye abo, baliba ng'ensolo ezitalina magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, balizikirizibwa mu kuzikirira kwe kumu ng'ensolo ezo,#Yud 10 13nga babonaabona olw'okwonoona kwabwe. Balowooza ebinyumu by'emisana nga lye ssanyu lyabwe. Balina amabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe.#Yud 12 14Balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa! 15Baleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu;#Kubal 22:7, Kub 2:14, Yud 11 16naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye, endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya nnabbi.#Kubal 22:28 17Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi.#Yud 12,13 18Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okudduka abatambulira mu bukyamu.#Yud 16 19Babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga ekyo ekiwangula omuntu abeera muddu waakyo.#Yok 8:34, Bar 6:16 20Kuba bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi olw'okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ate ne beegombeza mu bwo omulundi ogwokubiri ne bawangulibwa, eby'oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye. 21Kubanga kyandibadde kirungi gyebali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, ate ne badda emabega okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa.#Luk 12:47,48, Yud 3 22Kibatuuseeko ng'olugero olw'amazima bwe luli nti, “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.”#Nge 26:11

Currently Selected:

2 Peetero 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in