Skip to content

2 Ekyebyomumirembe 2

2
Enteekateeka z'Okuzimba Yeekaalu
(1 Bassek 5:1-18)
1Awo Sulemaani n'ateekateeka okuzimbira Mukama ennyumba, ate naye okwezimbira olubiri.#1 Bassek 5:5 2Sulemaani n'alonda abasajja emitwalo musanvu (70,000) ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana (80,000) ab'okwasanga amayinja ku nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) okulabiriranga omulimu.#1 Bassek 5:15,16 3#1 Bassek 5:2-11Sulemaani n'aweereza Kulamu kabaka w'e Ttuulo obubaka buno nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange n'omuweereza emivule okwezimbira ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange.#1 Byom 14:1 4Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange ennyumba, era n'okugiwonga eri ye, olw'okwoterezayo obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'okuweerayo emigaati egya buli kiseera, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Ssabbiiti ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi ne ku mbaga endala ezaateekebwawo Mukama Katonda waffe, nga bwe yalagira Isiraeri okukolanga emirembe gyonna.#Kuv 30:7, Leev 24:5-8, Kubal 28:3-11, Ma 16:16 5N'ennyumba gye nteekateeka okuzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.#Kuv 15:11, 1 Byom 16:25, Zab 86:8; 135:5 6Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga n'eggulu lyennyini erya waggulu taligyamu? Nze nno nze ani okumuzimbira ennyumba ey'okwoterezamu obubaane mu maaso ge?#2 Byom 6:18, Is 66:1, Bik 7:49 7Kale nno, mpeereza omusajja omumanyirivu asobola okuweesa ebya zaabu, ne bya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, ate era asobola okuluka engoye ez'effulungu, n'entwakaavu, ne za kaniki, ate amanyi okusala amayinja ag'enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.#1 Byom 22:15 8Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abasajja bange banaakolera wamu n'ababo, 9okunteekerateekera emiti emingi: kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba nnene ddala. 10Nja kuwa basajja bo abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule emitwalo ebiri (20,000) n'ebigero ebya sayiri emitwalo ebiri (20,000), n'ebita eby'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri (20,000) n'ebita eby'amafuta ag'Omuzeyituuni emitwalo ebiri (20,000).” 11Awo Kulamu kabaka w'e Ttuulo n'awandiikira Sulemaani ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.#2 Byom 9:8 12Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, alina amagezi n'okumanya, ateeseteese okuzimbira Mukama ennyumba, n'okwezimbira olubiri.#Zab 121:2, Bik 4:24 13Kale Kaakano nno nkuweereza omusajja omumanyirivu ayitibwa Kulamu. 14Nnyina y'omu ku bazzukulu ba Ddaani, ne kitaawe yali mutuuze w'e Ttuulo. Mumanyirivu mu kukola omulimu ogwa zaabu, ogwa ffeeza, ogw'ebikomo, ogw'ebyuma, ogw'amayinja, ogw'emiti, ogw'engoye ez'effulungu, eza kaniki, eza bafuta ennungi ne z'engoye entwakaavu. Era mumanyirivu mu kwola enjola ez'engeri zonna, era asobola okuyiiya engeri yonna ku kintu kyonna ekimuweereddwa okukola. Mukuweereza akolere wamu n'abasajja bo ab'amagezi era n'abo aba mukama wange, Dawudi kitaawo.#1 Bassek 7:14 15Kale nno, tuweereze eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye wasuubiza. 16Naffe tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunagiseeyeereza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe eyo gyoligiggya okugitwala e Yerusaalemi.” 17Awo Sulemaani n'abala bannamawanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri, nga ne Dawudi kitaawe bwe yababala: omuwendo gwabwe bonna baali emitwalo kkumi n'etaano mu enkumi ssatu mu lukaaga (153,600).#1 Byom 22:2 18N'alonda kubo abantu emitwalo musanvu (70,000) okuba abeetissi be by'okuzimbisa, n'abalala emitwalo munaana (80,000) okwasanga amayinja ku nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) n'abateekawo okulabiriranga abaakolanga emirimu.#2 Byom 2:2