1
ABEEBUREEYI 1:3
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.
Compare
Explore ABEEBUREEYI 1:3
2
ABEEBUREEYI 1:1-2
Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng'ayita mu balanzi. Naye mu biseera bino eby'oluvannyuma, ayogedde naffe ng'ayita mu Mwana we, gwe yateekawo okuweebwa byonna, era gwe yayitamu okutonda ebintu byonna.
Explore ABEEBUREEYI 1:1-2
3
ABEEBUREEYI 1:14
Kale bamalayika bonna, si gye myoyo egiweereza Katonda, gy'atuma okuyamba abo ab'okulokolebwa?
Explore ABEEBUREEYI 1:14
4
ABEEBUREEYI 1:10-11
Era agamba nti: “Ggwe, Mukama, mu kusooka watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini. Byo biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo.
Explore ABEEBUREEYI 1:10-11