2 ABAKORINTO 1:3-4
2 ABAKORINTO 1:3-4 LBWD03
Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo era Kitaffe, ajjudde okusaasira, era Katonda asanyusa bonna, atenderezebwenga. Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda.












