Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi. Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira: kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.