1
Zabbuli 27:14
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.
Compare
Explore Zabbuli 27:14
2
Zabbuli 27:4
Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye.
Explore Zabbuli 27:4
3
Zabbuli 27:1
Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?
Explore Zabbuli 27:1
4
Zabbuli 27:13
Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama Mu nsi ey'abalamu.
Explore Zabbuli 27:13
5
Zabbuli 27:5
Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi.
Explore Zabbuli 27:5