Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu: ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n'abalala ab'oku baana ba Isiraeri, abakulu b'ekibiina bibiri mu ataano, abaayitibwa mu kkuŋŋaaniro, abasajja abaayatiikirira