1
Okubala 13:30
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.
Compare
Explore Okubala 13:30
2
Okubala 13:33
Era twalabayo Banefiri, abaana ba Anaki, abaava ku Banefiri: naffe ne tuba mu maaso gaffe ng'obwacaaka, era bwe twali mu maaso gaabwe.
Explore Okubala 13:33
3
Okubala 13:31
Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti Tetuyinza kwambuka ku bantu abo; kubanga batukiza amaanyi.
Explore Okubala 13:31
4
Okubala 13:32
Ne baleeta ebigambo ebibi eby'ensi gye baali bakesse eri abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta, nsi eriira ddala abagituulamu; n'abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo.
Explore Okubala 13:32
5
Okubala 13:27
Ne bamubuulira ne bagamba nti Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.
Explore Okubala 13:27
6
Okubala 13:28
Naye abantu abatuula mu nsi ba maanyi, n'ebibuga biriko enkomera, binene nnyo: era nate twalabayo abaana ba Anaki.
Explore Okubala 13:28
7
Okubala 13:29
Amaleki atuula mu nsi ey'obukiika obwa ddyo: n'Omukiiti, n'Omuyebusi, n'Omwamoli, batuula ku nsozi: n'Omukanani atuula kumpi n'ennyanja, era ku lubalama lwa Yoludaani.
Explore Okubala 13:29
8
Okubala 13:26
Ne batuuka ne bajja eri Musa n'eri Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, mu ddungu lya Palani, e Kadesi; ne babaddiza ebigambo bo n'ekibiina kyonna, ne babalaga ebibala by'ensi.
Explore Okubala 13:26